Eno mu butongole, ng'emukwasiddwa Omumyuka w'omuwandiisi w'Enkalakkalira mu Woofiisi ya Katikkiro, Omuk. Peter Zzaake, ku lwa Minisita abadde mu kifo ekyo, Oweek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma.
Bw'abadde akwasibwa woofiisi eno, Oweek Mariam Mayanja, asabye Bboodi y'ekikula ky'Abantu, okutambuliza obuweereza ku nnyingo ennya ez'omulembe omuggya , okuli, obuyiiya, obwerufu, obwagazi n'obunyiikivu.
Ssentebe wa Bboodi, Omuky. Fatuma Nakkazzi, ku lwa Bboodi, yeeyamye okwongera amaanyi mu mirimu gye babadde bakola nga balambikibwa Minisita waabwe omuggya.