
Owek. Dr. Anthony Wamala ng’awa obubaka bwe nga akutte ekitabo *Eddoboozi ly’Omutaka Maweesano* ekyatongozeddwa.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala akubiriza abakulembeze b’Ebika okukola ennyo okukulakulaanya ebifo by’ennono okwongera okusikiriza abazzukulu okubyeyunira.
Obubaka buno abuwadde alambula Obutaka obw’enjawulo mu Buddu okuli ekya Ng’aali e Buzooba Buwunga, Engabi Ennyunga mu Bwende Kyesiiga n’Ekika ky’Ente e Mulema Kyesiiga mu Buddu ku Lwokuna.
Owek. Wamala abajjukiza emirimu mu minisitule y’Obuwangwa okuli okunyweza Ebika okuviira ddala ku bukulembeze mu bika nga kino kyekinyweza Nnamulondo, okukunga n’okwagazisa abazzukulu ensonga z’Ebika, okukuuma ettaka ly’Obutaka n’okukola emirimu egivaamu ensimbi ezinaabiyamba okweyimirizaawo.
Minisita alambuziddwa ekifo ky’e Kabaana mu nsozi e Kasana nga wano wewatuziibwa Omutaka w’Ekika kino Maweesano era kifo kyakijjukizo mu byafaayo bya Ng’aali.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala alambula Ekika kya Namungoona e Kasaka Buddu.
Olunaku olw’okubiri nga Minisita Anthony Wamala n’Omutaka Augustine Kizito Mutumba nga balambula Obutaka bw’Ebika mu Buddu.
Ebika ebirambuddwa leero kuliko Ekika kya Ŋŋaali ne Namungoona.
Ensonga eteekedwako amaanyi mu kulambula kuno kwe kulaba nti abazzukulu bakubirizibwa okwenyumiriza mu bubi bwabwe n’Ebika byabwe.
Minisita Anthony Wamala obwanga abutunuuliza kukubiriza bakulembeze mu Bika okuyooyota Embuga z’Ebika byabwe, okukulaakulanya Obutaka bw’Ebika, okutondawo enteekateeka eziyamba abazzukulu, Ebika okubeera n’emitimbagano abazukkulu okusobola okumanya ebigenda mu maaso n’ensonga endala.

Omutaka Augustine Kizito Mutumba, Minisita Owek. Dr. Anthony Wamala n’abakulembeze b’ekika ky’Ngaali mu kifaananyi ekya wamu
Okulambula Obutaka bw’Ebika e Buddu kujja kukomekkerezebwa olunaku olw’enkya.
Ono era alambuziddwa omuti ogwasimbibwa Ssaabasajja mu 2019 bweyali akyaddeko ku Mbuga eno n’aggulawo e Kiggwa ky’abazzukulu ba Kajjabuwongwa.
Dr. Wamala yeebazizza nnyo abakulira Ebika bino abazimbye Embuga y’Ekika, ekifo ewakolerwa emikolo awamu n’enkulaakulana endala.
Minisita abasomoozezza okuvaayo n’obuyiiya nga bayita mu bazukkulu, Omutaka atandike ensawo y’ebyenjigiriza enasobozesa abazzukulu okusoma bakuguke basobole okuzimba Ebika kyabwe.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka abakulu ab’Obusolya Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba yeebaziza nnyo Oweek. Wamala olw’okusembeza Obwakabaka mu Bika nga ayita mu kulambula emirimu egikoleddwayo n’okubazzamu esuubi ly’okusitula Ebika okutambulira ku mulembe.
Omutaka Namwama abakubiriza okukuuma Obuwangwa bwabwe kubanga kya kitiibwa nnyo mu nsi yonna nga kimanyiddwa nti Obwakabaka bulina Ebika 56 nga Abayisirayiri bwe balina 12.
Omutaka asabye Obwakabaka okunoonya abakugu mu Bika eby’enjawulo abakuliridde okubagyamu ebikusifu ebikwata ku Bika byabwe bisobole okukuumibwa.
Waliwo akatabo akatongozeddwa nga kayitibwa Eddoboozi ly’Omutaka Maweesano nga kanyonyola ebikwatagana ku busibuko bw’Ekika kino.
Katikkiro Richard Musajja Akaawa asabye Minisita abayambe abanjulire obwetaavu bw’Ebika kyabwe mu Lukiiko lw’Ebyensimbi mu Bwakabaka kubanga balina ebisomooza ebiwerako.