Minisita omubeezi ow'akanyigo k’e Luwero, Hon. Alice Kaboyo, akyaddeko embuga n’asisinkana Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Oweek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase.
Boogedde ku nsonga ez’enjawulo, naddala ezeekuusa ku nkolagana y’Obwakabaka ne Minisitule y’akanyigo k’e Luweero, okukulaakulanya abantu; enteekateeka za gavumenti ez’ebyobuwangwa ezigwa obutereevu mu Bwakabaka bwa Buganda, n’ebijjukizo eby’enkizo ebyetaaga okukuumibwa obutiribiri.
Minisita Kaboyo, asiimye Prof. Kaawaase, n’amutegeeza nga bwe waliwo obwetaavu okunyweza enkolagana n’okuwabulwa okuva eri Obwakabaka, okusobola okuzimba ebijjukizo mu bitundu by’e Luweero.