Oweek Robert Serwanga nga akyadeko ku kampuni enkozi ya langi eya Rejoice Paint
Abavubuka okuva mu Ggombolola 4 okuli; Mut. II Nabweru, Mut. V Kawempe, Mut. I Nangabo ne Ssaabawaali Gombe be balambuddwa.
Ku bano kubaddeko Omusawo eyatandikawo eddwaaliro, omukozi wa Ssabbuuni, ow'essigiri ezikekkereza amanda, omukuzi owa langi eyitibwa Rejoice Paints, omutunzi w'ensawo n'engatto, era atuseeko ne mu kifo awatendekerwa emirimu egy'emikono.
Wanno nga alambula abakozi bamasigiri
Oweek. Serwanga akubirizza abavubuka okuva mu kwesaasira wabula buli kyebakwatako bakikole na maanyi, era abakuutidde obutamala gasaasanya nsimbi ze bafuna wabula okuterekako kibayambeko mu kwekulaakulanya.
Wano waasabidde okukolera awamu n'okwesitula mu mbeera eby'obweggasi, asabye n'abakozesa bannaabwe obukwatirako nabo okwekulaakulanya.
Mu kulambula kuno, Minisita atambudde n'abakiise b'Abavubuka mu lukiiko lwa Buganda, Abaami ba Kabaka mu Ssaza Kyaddondo ab'Eggombolola n'Abemiruka, n'abakulembeze b'Abavubuka ku mutendera egy'enjawulo.