Oweek Serwanga nga alin'abavubuka mu kifananyi ekyawamu
Minisita Serwanga okwogera bino abadde asisinkanye abakulembeze b'Abavubuka okuva mu Bika eby'enjawulo mu Bulange, ng'ensisinkano eno eddiridde okusaba okwakolebwa Minisitule y'Abavubuka eri Abataka Abakulu Ab'obusolya buli Kika okufuna abakulembeze b'Abavubuka mu Kika 2 omulenzi n'omuwala.
Ategeezezza nti eky’obukulembeze bwa bavubuka okutandikkira mu Bika kijja kuyambako okubalondoola ate n’okubafuula ab’obuvunanyizibwa.
Owek Sserwanga era abavubuka abasabye okuzimba obukulembeze obunywevu era bataayize emikisa gyonna naddala egiva mu Gavumenti ya Ssabasajja ate wamu ne gavumenti eyawakati.