Oweek. Robert Serwanga nga ayogera n’abannamawulire mu nsisinkano e Bulange, Mengo
Oweekitiibwa Robert Serwanga Ssaalongo, Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda, ayogedde n’abannamawulire mu nsisinkano e Bulange, Mengo, ne yeebaza buli kinnoomu alina kyakoze mu mpaka z'Omupiira gw'Amasaza omwaka guno okutuuka kati ku luzannya olw'akamalirizo olugenda okubeera mu Kisaawe e Namboole.
Yayongedde n’akubiriza abantu okubeera abangi mu Kisaawe e Namboole ku lunaku lwa 2/11/2024, nga bagenda okulaba omupiira gw’akamalirizo.
Minisita Serwanga yakakasizza nti ku lunaku olwo, waliyo emipiira ebiri.
Ogusooka ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu ogunaasambibwa ku Ssaawa 5 ez'okumakya ate ogw'akamalirizo guzanyibwe ku ssaawa mwenda ez'emisana.
Yasabye abawagizi okuva mu masaza gonna okujja okukuuma empisa, n’okwewala okukola effujjo mu kkubo n'okuvuga obulungi kubanga Ssaabasajja Kabaka abantu be abaagala balamu.
Emizannyo gyonna gyakuzannyibwa mu Kisaawe e Namboole nga Kyaddondo ezannya Buweekula, ate Buddu ng’ezannya Kyaggwe mu gw'okusalawo ani Nnantameggwa w'empaka z'Omwaka guno ez'omulundi ogwa 20.
Okuyingira kujja kubeera ku mitwalo ebiri (20,000/=), emitwalo etaano (50,000/=), n’emitwalo kkumi (100,000/=) ng’emisoso.
Mujje musanyukire ekikopo!
#MasazaCupFinals | #MasazaCup2024