Oweek Serwanga owokubiri okuva ku konno ngalambula omusiri gwe mwanyi e Kanoni
Minisita Robert Serwanga Ssaalongo alambudde abavubuka abakola emirimu egy'enjawulo mu Ssaza ly'e Gomba.
Alambudde abalimi b'emmwanyi, amatooke, entangawuzi, abalunzi, abyokya ebyuma n'abalala. Bano abeezizza nnyo olw'okubeera abakozi, kyokka abasabye okwongera okufuna obukugu mu byebakola, basobole okufulumya ebintu ebivuganya ku katale k'Ensi yonna.
Oluvannyuma atongozza obukulembeze bw'Abavubuka mu Ssaza era n'asaba abaweereddwa obuvunaanyizibwa okubutuukiriza nga baweereza bulungi abo be bakulembera.
Obwakabaka bufubye nyo okutumbula eby’obulimi nadala mu bavubuka.