Oweek Anthony Wamala, akwasiddwa Woofiisi mu butongole.
Emukwasiddwa Oweek Hajji Amisi Kakomo, abadde akuuma entebe ya Minisitule eno oluvannyuma lwa Oweek David Kyewalabye Male okuwummula.
Mu kwogera kwe, Oweek Anthony Wamala, agambye nti essira agenda kusooka kulisa ku kaddiyizo ly'obwakabaka okulaba nga litandika, wamu n'Okukakasa nti amasiro ge Kasubi gamalirizibwa olwo abalambuzi batandika okugettanira.