donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Minisita omubeezi owa gavumenti ez'Ebitundu n'Okulambula kwa Ssaabasajja Kabaka, Oweek. Joseph Kawuki, akuutidde abantu ba Beene mu Canada, okunywerera ku Ssaabasajja Kabaka, nga beewala bannakigwanyizi abaagala okubajja ku mulamwa

Minisita omubeezi owa gavumenti ez'Ebitundu n'Okulambula kwa Ssaabasajja Kabaka, Oweek. Joseph Kawuki, akuutidde abantu ba Beene mu Canada, okunywerera ku Ssaabasajja Kabaka, nga beewala bannakigwanyizi abaagala okubajja ku mulamwa

Bino abyogeredde Toronto, mu Canada, oluvannyuma lw'okusimbula Emisinde gy'Amazaalibwa ga Kabaka mu kitundu ekyo, mu kiro ekikeesezza olwa leero, egitaddukibwa mu Kafuumuulampawu, olw'embeera y'obudde gye baalimu mu kiseera ekyo. 

Abayitiddemu ku bituukiddwako mu myaka 10 egiyise, n'oluvannyuma n'atongoza enteekateeka y'okusomesa Olulimi Oluganda n'Obuwangwa bwa Buganda mu Canada. 

Waabaddewo n'omusomo ku mukenenya ng'omusomesa omukulu abadde, Sandra Kyagaba, asabye abantu okubudaabuda abalina akawuka, okusobola okukendeeza ku ndwadde z'emitwe. 

Oweek. Estella Muyinda, akukembera abantu ba Beene e Canada, yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olwa kaweefube w'okulwanyisa mukenenya ku bantube.

Minisita ali Canada, ku mirimu emitongole, nga olunaku lwa ggyo yawerekeddwako Omuk. Edward Kaggwa Ndagala, owa Kabaka Foundation, mw. James Martins Nsubuga, Omumyuka w'Omubaka wa Kabaka e Canada.

Image

Oweek. Joseph Kawuki nga asimbula emisinde.

Image

Oweek. Joseph Kawuki nga ayogerako nab bantu bakabaka e Canada.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK