donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Minisita Noah Kiyimba alambudde abantu abakola emirimu gy’emikono mu Divizoni ya Lubaga

Minisita Noah Kiyimba alambudde abantu abakola emirimu gy’emikono mu Divizoni ya Lubaga
Owek. Noah Kiyimba wakati mu tayi nga ali n’abantu be yagenze okulambula.

Owek. Noah Kiyimba wakati mu tayi nga ali n’abantu be yagenze okulambula.

Mu baalambudde kuliko ejjalulizo ly’obukoko obuto erisangibwa e Nakuwadde, nga kaweefube ono amutadde nnyo ku kwaluza enkoko — enganda okusinga enzungu.

Dr. Dianah Kitonsa, nannyini jjalulizo lino, agambye nti nga bayita mu nkola eno basobodde okufunira abantu emirimu era bangi bongedde ku nnyingiza yabwe.

Mu balala abaakyaliddwa kuliko Musawo Nakanyike Annet e Namungoona Kigobe, alundira enkoko awafunda era zimuyambye okufuna eky’okulya n’okulabirira abaana.

Nakato Gloria owa Nakulabye, akozesa oluggya lwe okulima sukumawiki, okulunda embaata n’enkoko, ate n’okulima amatooke.

Mukyala Annet Kayongo, Namwandu asangibwa mu Nakulabye, yasalawo okukozesa oluggya okulundiramu eby’ennyanja, okulima enva endiirwa, n’okulunda enkoko. Ono alaze Minisita engeri gy’alundamu eby’ennyanja nga akozesa ebipipa ebitonotono okulembeka amazzi, eby’ennyanja bino mwe bikuumirwa.

Minisita Kiyimba era yatuuseeko e Kabuusu mu Lubaga mu kifo abavubuka webakolera eby’emikono ebitali bimu okuli okutunga engatto, ensawo, engoye, n’ebirala. Atwala ekifo kino, Mw. Gideon Byamureba, ategeezezza nti yasalawo okutandikawo ekifo kino n’ekigendererwa eky’okubangula abavubuka babeeko bye beekolera, kisobozese okwongera ku bungi bw’ebintu ebikolebwa mu Uganda obutale bw’ensi yonna.

Mu bubaka bwe eri abantu bano, Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba, asabye abantu ba Kabaka balunde enkoko za wano kubanga nnyangu okulunda ate zivaamu eddagala — zirya omuddo ogwa bulijjo, obuwuka n’ebikuta — ekyanguyira buli muntu okwenyigiramu.

Wano nga balaga matiriyo gwebakozesa.

Wano nga balaga matiriyo gwebakozesa.

Ono asanyukidde okulaba nti abavubuka be basinze okwenyigira mu mulimu guno nga bassa mu nkola obubaka bwa Kabaka obutakkiriza kuweebwa bunyebwa, kubanga basobola okwekolera bokka.

Agambye nti kaweefube aliwo ensangi zino wa kwerwanako, abantu nga bakola ebibatwala mu maaso. Asabye abavubuka okwettanira emirimu gy’emikono nti gino gye ginaabaggyamu mu nnyanga z’obwavu.

Annyikizza ensonga y’okulonda omuntu ategeera Kabaka, omukozi era ajjumbira ensonga z’Obwakabaka, nga batwala eky’okulabirako kya Mukyala Dianah Kitonsa afubye okukulaakulanya abantu bonna awatali kusosolamu.

Owek. Noah yeebazizza Namwandu Kayongo obuteekubagiza olw’okufa kw’omwami we, wabula n’afaayo okwebeezaawo.

Asabye abantu ba Kabaka okukozesa empya zaabwe okuyingiza ensimbi, naddala mu kulima enva endiirwa.

Dr. Dianah Kitonsa, nga y’akulembeddemu kaweefube w’okubangula abantu bano, asabye Obwakabaka wabeewo enkolagana nabo basobole okubangula abantu ba Kabaka, kibayambe okuvvuunuka obwavu.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK