Oweek Mariam Mayanja bwabadde ayogerako eri NEMA
Okwogera bino Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n'ekikula ky'Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, abadde aggalawo omusomo ogw'okubangula abaami ba Kabaka abatwala ekitongole kya Bulungibwansi n'obutondebwensi ku Masaza, ku mukka abantu gwe bassa n'ekingendererwa ekyokumanyisa abantu ku kabi akali mu kwonoona obutonde ekiviirako abalala okussa omukka omubi ogubaviirako endwadde.
Abakulembeze ku mitendera egye njawulo
Hajjat Mariam agamba nti singa abantu bafuna okusomesebwa ku ngeri gyebayinza okukozesaaamu entobazi, kyandibadde kyangu okumanya biki byebalina okukolera ku bifo ebyo nebatafuna kutawanyizibwa okuva mu kitongole kya NEMA.
Era agamba nti n'amateeka ku ntobazi gandibadde tegataliza, gakwate ku buli muntu sso ssi bamufuna mpola.
Asabye aba NEMA babunyise obuweereza bwabwe mu buli kitundu ky'eggwanga nga bassaayo amatabi babangule abantu bonna kireme kulowoozebwa nti NEMA ekolera mu kibuga mwokka.
Jennifer Kuteesakwe, (Senior environment inspector Air quality, noise and notious smells), Agamba nti omukka omubi gusinga kuva mu kwokya emipiira gy'emotoka, emotoka enkadde, amakolero, enfuufu Eva ku nguudo embi, amasundiro g'amafuta, n'okwokya kasasiro.
Noolwekyo asabye abantu okwewala ebintu ebiyinza okuleeta omukka omukyamu ogwonoona obutondebwensi.
Omusomo gubadde ku Bulange e Mmengo.