Minisita Joseph Kawuki ng’atuusa obubaka bwe eri bassentebe b’amasaza, abamyuka baabwe, abalambuzi, n’abakwanaganya emirimu
Minisita Joseph Kawuki asisinkanye abaami b’amasaza, abamyuka baabwe, abalezi, n’abalambika ku nteekateeka y’emirimu eginaakolebwa mu mwaka 2025.
Mu nsisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri, Owek. Kawuki asabye abaami ba Kabaka okukubiriza abantu okwetaba mu kulonda kwa 2026. Yagambye nti okwenyigira mu kulonda kuno kye kijja okubayamba okufuna eggwanga ery’obulungi eribaweereza mu ngeri gye baagala.
Owek. Kawuki yannyonnyodde nti mu kiseera kino eby’obufuzi biri ku ntikko, era ng’eggwanga ligenda mu kulonda abakulembeze mu mwaka 2026, abantu basaanye okwongera amaanyi mu kulonda abakulembeze abanaabakiikirira ku mutendera ogw’eggwanga n’okukuza omuwendo gw’abalonda.
Minisita Joseph Kawuki mu kifaananyi ekyawamu n’abaami b’amasaza, abamyuka baabwe, abalezi, nga amaza okubalambika ku nteekateeka y’emirimu eginaakolebwa mu mwaka 2025
Mu kiseera kino, amasomero g’Obwakabaka aga Nnasale gagenda ku ggulwawo. Minisita Kawuki asabye abaami b’amasaza okwenyigira mu ntambuza y’emirimu ey’amasomero gano, basobole okukakasa nti gasigala ku mutindo oguwesa Obwakabaka ekitiibwa.
Ab’amasaza bano era babanguddwa ku bikwata ku musujja gw’ensiri, era baweerezeddwa obubaka obusaba nti bwe bakomawo mu bitundu byabwe, bagabire abantu enjiri eno ng’omu ku kaweefube w’okutereeza eby’obulamu mu ggwanga.