Owek. Anthony Wamala (ku ddyo) ng’atongoza ekitabo ‘Prof. William Ssenteza Kajubi: The Man of His Legacy,’ ng’ali wamu ne Dr. Jones Kyazze, omuwandiisi w’ekitabo (ku kkono)
Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Anthony Wamala, asabye abantu okufaayo okuwandiika ebyafaayo n’ebibakwatako.
Yagamba nti kino kijja kuyamba mu kukuumira omukululo n’okutereka ebyafaayo mu butuufu bwabyo.
Obubaka buno, Minisita Wamala abuwadde ng’akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga, ku mukolo ogw’okutongoza ekitabo “Prof. William Ssenteza Kajubi: The Man of His Legacy”, ogubadde ku kitebe ky’ekitongole ky’Ebyobulambuzi n’Obuwangwa mu Buganda, ku Lwokuna.
Mu kwogera kwe, Owek. Wamala yategeezezza nti waliwo abantu bangi mu Buganda n’ensi yonna abakoze ebintu ebikulu eby’enkizo ebisobola okuyigirwako abantu abalala, ne babikozesa okukyusa obulamu bwabwe. Kyokka bwe bitawandiikibwa kizibuwalira abalala okubimanya oba okubifunako eby’okuyigirako.
Ekitundu ku beetabye, omuli n’abantu ab’amaanyi, ku mukolo gw’okutongoza ekitabo ‘Prof. William Ssenteza Kajubi: The Man of His Legacy
“Okukuuma omukululo n’okutereka ebyafaayo bisobola okwongera amaanyi mu kitiibwa kya Buganda, eby’Abaganda, n’ensi yonna,” Owek. Wamala bwe yagamba.
Yasinzidde ku nsonga eno okusaba abantu okufuna obusobozi okuwandiika ebyafaayo byabwe okusobola okukuumira embeera n’omukululo.
Minisita Wamala era yeebazizza Dr. Jones Kyazze, omuwandiisi w’ekitabo, olw’obumalirivu bwe n’okwolesebwa kwe okutereereza ebyafaayo bya Prof. William Ssenteza Kajubi n’abiteeka mu buwandiike obunyweza omukululo gwe.
“Kino kyakulabirako eky’ekitiibwa ekikuzzaamu amaanyi, era kye kigabira omukisa ogw’okuyiga eby’enjawulo okuva mu bulamu bw’abo abaatusooka,” Owek. Wamala bwe yategeezezza.
Ekitabo, 'Prof. William Ssenteza Kajubi: The Man of His Legacy,' ekyatongozeddwa ku mukolo
Dr. Jones Kyazze, omuwandiisi w’ekitabo, yategeezezza nti okuwandiika ekitabo kikola kinene nnyo, naye kikwetaagisa obumalirivu n’obukugu. Yagambye nti yabadde musanyufu nnyo okulaba nga ebyo by’awandiise bigenda kukolera abantu bangi, era nti waliwo abaganyulwa mu mulimu gwe.
“Tewali ssanyu kusinga okumanya nti ebyo by’owandiise bijja kusigala nga bitumiddwa okumala ebbanga lyonna,” Dr. Kyazze bwe yannyonnyola.
Dr. Kyazze yebazizza bonna abamuyambye mu kukung’aanya n’okuwandiika ebyafaayo bya Prof. Kajubi, kubanga omulimu gweyakolera eggwanga munene ogujja kusigala nga gujjukira ekiseera kyonna, era guyamba nnyo eggwanga.