Lwomwa Eria Lwasi Buzaabo omugya alondedwa
Eria Lwasi Buzaabo alondeddwa kubwa Lwomwa. Ono yabadde Katikkiro wa Lwomwa omubuze Daniel Bbosa.
Buzaabo ayanjuddwa ewa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, oluvannyuma anaamwanjula ewa Ssaabasajja Kabaka.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Lwomwa omuggya okukumaakuma bazzukulu be, nokukimanya nti Ssaabasajja Kabaka ye Ssaabataka.
Katikkiro w'Ekika ky'Endiga, Paul Luyombo Kiyingi yakoze omukolo gwokwanjulira Katikkiro Mayiga Lwomwa omuggya.