donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Lutikko y’e Lubaga ewuumye, Obuganda Nga Bujaguza emyaka 70 egya Kabaka Mutebi II

Lutikko y’e Lubaga ewuumye, Obuganda Nga Bujaguza emyaka 70 egya Kabaka Mutebi II
Nnabagereka, Nalinya Nabaloga, Owek. Katikkiro n’omukyala we, wamu n’abakulu abalala abetabye mu kusaba ku Lutikko e Lubaga

Nnabagereka, Nalinya Nabaloga, Owek. Katikkiro n’omukyala we, wamu n’abakulu abalala abetabye mu kusaba ku Lutikko e Lubaga

Obuganda bujaguza emyaka 70 egy’obulamu bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu kusaba okwabadde ku Lutikko e Lubaga, nga kwetabyeko ebikonge eby’enjawulo okuva mu bantu b’Obwakabaka n’abantu abalala.

Mu kusaba kuno kwetabiddwamu Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Abalangira n’Abambejja, Bakatikkiro abawummula, Abataka abakulu b’Obusolya, Kkabineeti y’Obwakabaka, abakulembeze b’eddiini ez’enjawulo, ababaka ba Palamenti, n’abagenyi abalala.

Katikkiro Charles Peter Mayiga atuusizza obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka, n’ayebaza Obuganda olw’okumusabira ebbanga lyonna, natebuka ebimusomooza, kwossa ne mu biro ebyali ebizibu. Yayongedde n’okwebaza abasawo abakuno n’ebweru wa Uganda abamujjanjaba, era n’alaga essanyu olw’enjawulo gy’alina kati mu bulamu bwe.

Maama Nnabagereka nga asala keeke y’amezaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ku myaka 70

Maama Nnabagereka nga asala keeke y’amezaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ku myaka 70

Owek. Mayiga yategeezezza nti olunaku luno lw’ebyafaayo mu Buganda, era lugatta abantu, kuba Buganda eyise mu biwenda bisatu nga Nnamulondo terina Kabaka: ku mulembe gwa Chwa Nabakka omuze, ku mulembe gwa Ssekabaka Mwanga II, awamu ne ku Muteesa II, Obwakabaka bwe bwaggyibwawo Obote ne busigala mu mitima gy’Abaganda.

Ssaabasumba Ssemogerere akulembeddemu okusaba

Ssaabasumba Paul Ssemogerere, Omusumba Mukulu w’essaza ekkulu erya Kampala, ye yakulembeddemu okusaba. Mu bigambo bye, yebazizza Katonda olw’okukuuma Kabaka n’okumutuusa ku myaka 70. Yawonze Beene mu mikono gya Katonda, amusabira okumweyongera okumukuuma, okumuwangaaza n’okumuwanga obulamu obulungi.

 Ekivanannyi ekya wamu mu Lutikko e Lubaga nga kusaba kuwedde

Ekivanannyi ekya wamu mu Lutikko e Lubaga nga kusaba kuwedde

Ssaabasumba yalambuludde nti Olusozi Lubaga lwa byafaayo nnyo mu Buganda, kubanga ye Kabaka Muteesa I we yasinziira okwaniriza Abamisaani abaleeta eddiini zonna. Era Kabaka Mutebi II, mu ntebe ya bajjajja be, ayagala eddiini zonna n’okuzisaamu ekitiibwa, ekiraga obumu n’obwettwaze.

Yagambye nti okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja kitegeeza okusiima Katonda, kuba Kabaka kye kisikirize kye ku nsi; amannya ge nga Nnyininsi, nga kitegeeza omutwe w’eggwanga. Yagasseeko nti Obuganda bulina essanyu buli lwe bujaguza Kabaka, kuba Kabaka ayungulula abantu era anyweza obumu.

Nnabagereka nga asimba omutti ogw’okujjukira amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 70 ku Lutikko e Lubaga

Nnabagereka nga asimba omutti ogw’okujjukira amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 70 ku Lutikko e Lubaga

Yategeezezza nti Buganda kye kitundu ekikulu mu byafaayo bya Uganda, era nti ebyobufuzi by’eggwanga byatandikira Buganda. Yagambye nti omusingi g’obulungi bw’eggwanga gutandikira mu Buganda, ate eky’omukisa kiri nti Obwakabaka n’Abaganda bubali mu musaayi.

Ono yagasseeko nti buli Obuganda lwebusanyukira mu Kabaka, kuba kuno kunyweza obumu. Kuba awatali Buganda, tewali Uganda. Era anafuya Uganda atandikira ku Buganda, kubanga mwemwasimbibwa omusingi gw’ebya bufuzi by’eggwanga.

Ssaabasumba yakakasizza nti obuwanguzi bwa Kabaka buwa essanyu eri ensi yonna, kuba waliwo akaseera akazibu mu bulamu bwe. Naye Katonda yamuwa obulamu obuggya. Yebazizza nnyo Katonda olw’okuzza Maaso mooji, Kabaka n’addamu okulembera Obuganda.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK