Eddwaliro lye Lubaga litongozza ekizimbe eky’omulembe kya myaliriro mukaaga, ekibuddwamu eyaliko Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Archbishop Cyprian Kizito Lwanga, ng’emu ku nteekateeka ez’okujaguza emyaka 125 bukyanga lyatandikibwawo.
Omukolo gwatandise n’omukisa gwa misa eyakulembeddwamu omubaka wa Paapa mu Uganda, Papal Nuncio Archbishop Luigi Bianco, nga ayambibwako Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, His Grace Paul Ssemogerere, n’omubaka wa Paapa eyawummula, Archbishop Augustine Kasujja.
Ekitundu ky’okutongola ekizimbe kyakulembeddwamu Ssabaminisita wa Uganda, Rt. Hon. Robinah Nabbanja, eyakiikiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Ekizimbe kino, ekituumiddwa Archbishop Cyprian Kizito Specialist Center, kigenda kubaamu obuweereza obw’ekikugu ennyo, omuli n’okusimbuliza ebitundu by’omubiri n’ebyobujjanjabi ebirala eby’omulembe.
Kyazimbiddwa ng’emu ku nteekateeka ez’okulaga obwesimbu bwa Lubaga Hospital mu kusitula omutindo gw’obulamu mu Uganda.
Eddwaaliro lya Lubaga lijaguza emyaka 125, nga lissa ekitiibwa mu nkolagana ey’amaanyi n’Obwakabaka bwa Buganda, eyavaamu n’okubawa ettaka okuzimba eddwaaliro lino.
Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda, Minisita w’Olukiiko Noah Kiyimba yakiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga. Yebazizza eddwaaliro lino olw’enkolagana ey’omutindo ne Buganda okuva lwe lyazimbibwaawo. Yagambye nti eddwaaliro lino lya mukulu mu nteekateeka ez’okuyamba ku bulamu bw’abantu ba Ssaabasajja n’okulwanyisa endwadde mu bitundu byabwe.
Yagasseeko nti Obwakabaka bugenda kwongera okuwagira enteekateeka z’eddwaaliro e Lubaga ez’obujjanjabi n’okukakasa nti abantu ba Buganda ne Uganda yonna bafuna obujjanjabi obw’omulembe.
Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze bangi, okuli Katikkiro wa Buganda eyawummula, Owek. JB Walusimbi, Meeya wa Lubaga, Owek. Mberaze Zaake Mawula, eyaliko Omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi, wamu n’abakulu mu by’obulamu.
Abatandisi b’eddwaaliro lino n’abakulembeze baasiimiddwa olw’obuweereza bwabwe obw’okutwala omutindo gw’obujjanjabi waggulu okuva mu myaka 125 egiyise.
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, His Grace Paul Ssemogerere, yasiimye olw’obuweereza obw’omutindo obwatuukirizibwa wansi w’eddwaaliro lino mu nsonga z’obufuzi n’eby’obulamu.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, ng’ayitidde mu Minisita Noah Kiyimba, yasiimye enkolagana ey’enjawulo eriwo wakati w’Obwakabaka ne Lubaga Hospital, era n’asaba abantu okwongera okwesiga eddwaaliro lino.
Olw’emyaka 125, Lubaga Hospital lyewaddeyo okujjanjaba abantu mu bitundu eby’enjawulo era lifuuse kyakulabirako ekirungi mu by’obulamu mu Uganda.