Katikkiro asinzidde ku Bulange naayozaayoza CBS olw'okutuuka ku myaka gino.
Yebazizza olukiiko lwa Buganda Economic Bureau olwafuna ekirowooozo ky'okutandikawo omukutu gw'empuliziganya okusobola okutuusa ensonga z'obwakabaka mu bantu ate mu budde.
Agamba nti radio eno etuukirizza bulungi omulamwa ogwajitandisaawo era abantu ba Ssaabasajja Kabaka bafuna butereevu ebifa embuga.
Yebazizza abajiddukanya, n'abakozi bonna abasobodde okujikuumira ku mutindo.