
📸 Owek. Israel Kazibwe Kitooke nga alangirira bboodi empya ya CBS
Laadiyo CBS efunye bboodi empya ekulemberwa Omukungu David Balaka, nga Mukyala Solome Nasejje Luyombo amuyambako ng’omumyuka wa ssentebe.
Abalala abaalondeddwa ku bboodi eno kuliko:
- Owek. John W. Katende
- Omw. Haruna Nnyanzi Lule
- Omuk. John Fred Kiyimba Freeman
- Omuky. Brenda Ssekabembe
- Omw. Benedicto Kiwanuka Bamweyana
- Omw. Francisco Ssemwanga
- Omuk. Micheal Kawoya Mwebe – Omuwandiisi wa bboodi
Bboodi eno etuulako ne ba dayirekita abalala basatu abaalondeddwa mu lukiiko lw’abanannyini migabo okukiikirira obwannannyini.
Nga alangirira bboodi empya, Minisita w’Amawulire, Okukunga n’Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, yasabye abaalondeddwa okukuuma omutindo n’okukuza CBS nga kitebe ky’amawulire ekikulu mu ggwanga.
Bboodi esooka ewummudde nga emaze emyaka mukaaga mu buweereza.