Kyabazinga nga agatibwa ne Mukyalawe
Kyabazinga wa Busoga Wilberforce Nadiope Gabula IV, agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne Jovia Mutesi kati afuuse Inhebantu.
Ssaabalabirizi wekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Samuel Kazimba Mugalu yabagasse.
Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, akwasizza Kyabazinga William Wilberforce Nadiope Gabula IV obubaka bwa Ssaabasajja obumuyozayoza okutuuka ku kkula ly'obufumbo obutukuvu.
Obubaka abumukwasirizza mu Lubiri lwe e Igenge e Bugembe.