Choose Language

Luganda English

  
donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Kkooti ya kisekwa ewadde ensala ku musango gw’okubuzaabuza obuzaale bwa Kanaakonye Muzabajja mu Kika ky’Empindi

Kkooti ya kisekwa ewadde ensala ku musango gw’okubuzaabuza obuzaale bwa Kanaakonye Muzabajja mu Kika ky’Empindi
Image

Kkooti ya Kisekwa

Omusango gw’okubuzaabuza obuzaale bw’omutuba gwa Kanaakonye Muzabajja mu Kika ky’Empindi gusaliddwa.

Kkooti ya Kisekwa (Olukiiko lw'Eddiiro lya Katikkiro) esazeewo ku nkayana z’obuzaale bw’Omutuba gwa Kanaakonye Muzabajja mu Kika Ky’Empindi, negusingisa omuwaabi Patrick Kanyago eyakiikirirwa Ssekalega Mubuulire, oluvannyuma lw’okuzuula nti omutuba gwayogerako teguliiyo.

Kkooti eno era ekizudde nti omuwaabi n’abawawaabirwa mu musango guno bonna bava mu Mutuba gumu ogwa Kyeswa e Kanyigo Bukunja mu Kyaggwe.

Ensala eno esomeddwa omuwandiisi w’Olukiiko luno, Omuk. Lubega Ssebende, eri bannamawulire mu Bulange e Mengo. Eddiiro lya Katikkiro ligamba nti obujulizi obuliwo bulaga nti omuwaabi n’omuwaawaabirwa bonna bava mu mutuba gumu ogwa Kyeswa e Kanyigo – Bukunja mu Kyaggwe, nga bwekityo ebya Kanaakonye tebiriiko bujulizi.

Kkooti era ekizudde nti agambibwa okubeera ow’Omutuba Kanaakonye Muzabajja, omuwaabi w’omusango Patrick Kanyago, emirundi emitono gy’eyalabikako gy’eri yalemererwa okuleeta obujulizi obukakasa obutuufu bw’Omutuba guno.

Kkooti ekizudde nti Ssekalega Mubuulire bwebaali tebanamuggya ku bukulu yatambulanga bulungi n’abamu ku banne, naye bwebaamuggya ku bwannamwandu, yanyiiga n’akyusa mu nneeyisa ye.

Kkooti ya Kisekwa eramudde

Kkooti ya Kisekwa eramudde

Kkooti ekakasa nti obutaka obugambibwa okubeera obutaka bw’omutuba bwa Kanaakonye Muzabajja buli we wali amaka ga Ssekalega Mubuulire eyali akiikirira Patrick Kanyago, era ekyo tebasobola kukizuula nga waliyo embuga y’omutuba oba abazzukulu.

Abalamuzi bwebatyo balagidde oyo yenna atamatidde n’ensala ya kkooti eno okujjulira ewa Ssaabasajja Kabaka mu bbanga lya nnaku asatu.

Omuk. Joshua Kateregga Kisekwa, awamu n’abamu ku b’Olukiiko lwe, be bawadde ensala eno mu Bulange e Mengo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK