donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Kkooti ya Kisekwa ewadde ensala ku mukulu w’akasolya k’ekika ky’Effumbe

Kkooti ya Kisekwa ewadde ensala ku mukulu w’akasolya k’ekika ky’Effumbe
Image

Abakulira kkoti ya kisekwa nga bawa ensala yabwe

Kkooti ya Kisekwa eramudde ku bukulu Bw'Ekika ky'Effumbe.

Abamu ku bazzukulu ba Walusimbi kabuze kata bafiire essanyu mu kkooti ya Kisekwa bw’esazizzaamu Yusuf Mbirozankya ku kifo ky’Omutaka w’ekika ky’effumbe.

Ekika ky'Effumbe, kya kufuna Omutaka omuggya oluvannyuma lw'okukizuula nti Yusuf Mbironzankya abadde nsowole.

Kino kivudde ku nsala y'omusango ogwawabwa Katikkiro we Ssiga lya Magunda, James Walusimbi Kisasa, n'abalala mu kkooti ya Kiskewa, okukizuula nti Omutaka Yusuf Mbironzankya tali mu buufu bwa Kisitu Ntege omuva oyo alya obwa Walusimbi.

Okusinziira ku nsala omutaka yalina kuva mu masiga asatu, kyokka nga ku gonna Mbirozankya talina ly’avaamu.

Image

Enjuyi zombi ezibadde zigugulana zakiikiriddwa

Kkooti ya Kisekwa nga ekulembeddwamu omulamuzi waayo, Joshua Kateregga, esomedde enjuuyi zombi obujulizi obwenjawulo kwesinzidde okuwa ensala yayo nga bwonna bulaga nti Ekika kye Ffumbe kimaze emyaka 1000 nga kitambulira mu bukulembeze obutali butuufu.

Oludda oluwanguddwa luweereddwa ennaku 30 okujulira ewa Ssaabasajja Kabaka.

Kati kitegeeza nti obukulembeze mu masiga asatu erya Magunda, Nagaya ne Ssempala, bulina okutuula okwerondamu omukulu w'Ekika omutuufu.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK