
Kkooti ya Kisekwa nga ewaayo ensala yaayo
Kkooti ya Kisekwa ewadde ensala ku musango ogwabadde mu Kika ky'Enseenene ku nsonga z’obukulu bw’essiga lya Kajubi.
Mu musango guno, abawaabi bawakanyizza ekya bazukkulu ba Marko Kironde okukulembera essiga lya Kajubi e Bujubi n’okuba Bakatikkiro b’Ekika ky’Enseenene.
Babalumiriza nti basibuka Kalamba mu Butambala. Bbo, bazukkulu ba Marko Kironde, bakikaatiriza nti essiga lino lirina kukulemberwa bazukkulu ba Ipolito Lule Jjolyabalamu, era nti Kajubi omutuufu ye Mulindwa Paul Kironde Katimpa.

Bazukkulu ba Kalibbala nga balinda okuwulira ensala y'omusango mu Kkooti ya Kisekwa
Kkooti ya Kisekwa yasabye enjuyi zombi okuwaayo obujulizi obutukirivu okuwaaba n’okwewozaako okunnyikiza ensonga zaabwe.
Leero, ensala ya Kkooti ya Kisekwa ebadde etuukiddwako nga erambika bingi eby’enjawulo ku nsonga zino:
- Abakuza b'Omutaka Kalibbala Balina Okuyamba ku Nkaayana mu Ssiga
Kkooti esabye abakuza b'Omutaka Kalibbala Adnan Nsozi n’abaamasiga mu Kika ky’Enseenene okuyamba Omutaka mu nteekateeka y’okugonjoola enkaayana eno. Bino birina okukolebwa nga baluŋŋamizibwa ensala ya Ssaabataka. - Omusango Guddizibwe mu Kkooti y'Ekika
Kkooti egambye nti omusango guno gulina okwongera okuwulirwa mu Kkooti y’Ekika. Ensala y’omwo eriyesigamwako ewaddeyo omukisa eri oludda oluliba lutamatidde okujulira mu ddiiro lya Katikkiro. - Obukulu bw’Essiga lya Kajubi Gulina Kuwulirwa mu Kkooti ya Kasolya k'Ekika
Kkooti ekikaatirizza nti obukulu bw’essiga lya Kajubi bulina okuwulirwa Kkooti ya Kasolya mu nsonga ez’enkizo ku bukulembeze. - Katikkiro Talina Kwennyigira mu Kuwulira Omusango guno
Kkooti ewabudde nti olw'okuba Katikkiro ye mukulu w'essiga lya Kajubi, naye nga ye muwawabirwa, talina kwennyigira mu kuwulira musango guno, newankubadde alimu ku batuuka mu Kkooti y'Ekika.
Ensala eno esomeddwa Omw. George Makumbi. Ekimala, emikono gya batunuulizi bano gibaddewo:
- Omuk. Joshua Kateregga, Kisekwa
- Omuk. Lubega Ssebende
- Omuk. Samuel Walusimbi
- Omuk. George Makumbi
- Omuk. Salim Makeera