donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Kkooti egobye Omusango ogukwata ku bintu ebyaddizibwa Obwakabaka ogwa wabwa Omulangira Kalemera Kimera

Kkooti egobye Omusango ogukwata ku bintu ebyaddizibwa Obwakabaka ogwa wabwa Omulangira  Kalemera Kimera
Image

Ssaabawolereza wa Buganda Oweek. Christopher Bwanika wakatti nga ayanjura ensala ya kooti

Ssaabawolereza wa Buganda Oweek. Christopher Bwanika ayanjulidde bannamawulire ebyavudde mu nsala ya kkooti olunaku lw'eggulo ku musango Omulangira Kalemera Harold Kimera gwe yawaaba ng'avunaana Kabaka ne Ssaabawolereza wa Uganda okutwala ebintu bye yayita ebibye okuli Ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'ettaka eddala. Ono yaloopa mu mwaka gwa 2020 ng'awakanya etteeka eryakolebwa mu 1993, omwasinziirwa okuddiza Obwakabaka n'obukulembeze obw'ensikirano obulala ebintu byabwo ebyali byatwaliibwa Gavumenti.

Ssaabawolereza agamba nti waliwo abantu ab'enjawulo abagenda bavaayo ne bawaaba emisangosango ku Bwakabaka, bano abategeezeza nti Obwakabaka bulina bannamateeka abakugu, era tebajja kukkiriza muntu yenna alowooza nti ajja kubaako by'awawagula ku Bwakabaka ng'ayita mu misango egy'ekimpatiira.

Munnamateeka Dennis Bugaya okuva mu Buganda Land Board annyonyodde nti ensala ya Kkooti eraga nti eteeka Kalemeera lyawakanya, lyakolebwa mu butuufu era n'ebintu byonna ebyaddizibwa Kabaka byadizibwa mu butuufu era mu mateeka kyokka Kkooti etaputa Ssemateeka si yeevunanyizibwa ku nsonga z'obugulumbo nga obwo.

Kkooti eragidde Omulangira Kalemera aliyirire Kabaka ne Gavumenti ey'awakati ensimbi zonna ezisaasanyiziddwa mu musango guno.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK