
Jennifer Muwonge (wakati) ng’akwasibwa engule
Kkanisa ya Paulo omutuukirivu e London, mu Bungereza, esiimye obuweereza bwa Mukyala Jennifer Muwonge, munnayuganda akola obwa nnakyewa obw'okuweereza mu kkanisa, ssaako n'okusoma ekitundu mu lulimi Oluganda buli Sande.
Mukyala Jennifer Muwonge yasiimiddwa olw’omulimu gw'akoledde e Kkanisa ya St. Paul’s Cathedral London, naddala mu kufuba okulaba nga olulimi Oluganda nalwo lufuna akanyomero ne lusomwa mu kitundu ekisomwa mu kkanisa eno. Olwo, olulimi Oluganda lwongera okusikiriza bannayuganda okwetaba mu kutendereza omutonzi nga basinziira mu lutikko.
Engule eyamuweereddwa, eya “Marsh Charitable Trust Award,” yasinga mu by’obuweereza obw’amaanyi. Bw’abadde akwasibwa engule eno, Mukyala Jennifer Muwonge ategeezezza nti musanyufu nnyo olw’okusiimibwa, era kabonero akalaga nti buli kintu omuntu kyakola n’okwagala nga tasuubirayo mpeera kisobola okuleetawo enjawulo mu kitundu ne mu bantu abalala.
Olulimi Oluganda lwatandika okusomebwa mu kkanisa eno mu mwezi gwa September oguwedde 2024, era lwe lulimi okuva ku ssemazinga wa Africa olwasookera ddala okusomebwa mu kitundu mu lutikko ya St. Paul’s Cathedral e London.
Jennifer Muwonge, muwala w’omugenzi Samuel Wamala Muwonge, nga ono y'omu ku baaliwo nga Ekibiina Ky'olulimi Oluganda kitandika, era weyaviira mu bulamu bw’Ensi mu mwaka gwa 2022 ng'ali ku Lukiiko olukulembeze olw'ekibiina kino.