Omugenzi Hon. Muhammad Ssegirinya
Obwakabaka bwa Buganda busaasidde nnyo ab’enju ya Hon. Muhammad Ssegirinya, abooluganda, n’abemikwano olw’okufiirwa muzukkulu wa Muteesasira ono. Tusaba Allah amulamuze kisa.
Ebyafaayo bya Ssegirinya Muhammad
Hon. Ssegirinya Muhammad abadde Omubaka wa Kawempe North mu Paalamenti. Mwana nzaalwa y’e Butale-Kaddugala mu disitulikiti y’e Masaka mu Buddu, gye yava nasenga e Kyebando mu gombolola y’e Kawempe, n’atandika obulamu obuggya.
Yazaalibwa mu 1988 mu maka ga kitaawe omugenzi Peter Ssemaganda ne Justine Nakajuumba. Yafiiridde mu ddwaliro e Lubaga ku lunaku lwa 9 January 2025, ku ssaawa mukaaga n’eddakiika kkumi ez’omuttuntu.
Obuweereza bwa Ssegirinya
Ajjukirwa nnyo olw’obuwereza bwe eri abantu, naddala ab’e Kyebando, beyakimira nga amazzi nebamuwa ensimbi, ez’amusobozesa okukuba essimu ku Radio ne TV era neyekazaako erinnya lya ‘Eddoboozi ly’e Kyadondo.
Ekifo kyeyali azimbye okulabirira abaana enfuuzi nebamulekwa Orphanage centre
Olw’okwagala okwongera ku birungi eby’abantu be, Ssegirinya yasalawo okuddayo okusoma n’afuna amagezi agamutwala mu byobufuzi. Mu 2016, yalondebwa okubeera Kansala wa KCCA era mu 2021, yawangula obululu n’afuuka Omubaka wa Kawempe North mu Paalamenti.
Mu nnaku 100 zokka zeyali yakamala mu Paalamenti, Ssegirinya yali amaze okutuukiriza ebimu ku bigendererwa bye mu manifesto era nga sente obukadde 200 parliament zeyamuwa okugula emmotoka, yazikozesa okutuukiriza bino:
- Okuzimba eddwaliro lya Kawempe North Hospital nga lirina eddagala era nga lya bwereere.
- Okugula ambulansi bbiri ez’abalwadde n’okusomesa n’okutumbula eby’obulamu by’abakyala.
- Okutandikawo Orphanage Centre ejjanjaba abaana enfuuzi n’abamulekwa.
Wabula, oluvannyuma lw’okusibwa, ebyo byonna byatandika okuggwa. Eddwaliro lyaggalwa, ebizimbe nebifuuka kifo ekisulwamu abatambuze (Guest House), ate n’ekifo ky’abaana enfuuzi, yakoma ku kukuzimba teyatandika kuweereza.
Ebbanga lyonna Sseggirinya lyeyamala mu kkomera, embeera y’obulamu bwe yagenda esereba, era okuva olwo obulamu bwe obusinga abumaze mu malwaliro.
Obwennyamivu bw’Obwakabaka
Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okusaasira eggwanga lyonna, naddala abooluganda n’abemikwano ba Ssegirinya Muhammad olw’okufiirwa omuvubuka ono ow’ensonga.
Minisita Noah Kiyimba, nga yaakikiridde Obwakabaka mu kuziika, yagambye nti:
“Ku mulembe guno Kabaka gwe yakwasa abavubuka, kikwasa ennaku okulaba abavubuka ab’ensonga ng’omugenzi Ssegirinya bafiira ku myaka emitono, nga bannyikiridde okukola ebigasa abantu.”
Yannyonnyola nti, wadde Ssegirinya yafiiridde ku myaka mitono, abantu bayinza okumulabirako mu bintu bingi, naddala obumalirivu bw'ayolesezza mu buweereza bwe ku mitendera gy'obukulembeze gy'akoleddemu.
Gutusinze nnyo, Ayi Ssaabasajja Kabaka.