Oweek Twaha Kawaase nga ali nabakulu okuva muminisitule yeby'obulamu begatidwako abavuzi ba Bodaboda okuva mu Kampala
Okutema empenda z'okulwanyisa omusujja gw'ensiri, Obwakabaka nga buli wamu ne Minisitule y'ebyobulamu mu Gavumenti ya wakati basisinkanye abavuzi ba Bodaboda, okubabangula ku buvunaanyizibwa bwabwe mu lutalo luno.
Bwabadde ayogerako eri aba Bodaboda bano abakungaanidde ku Bulange, Omumyuka asooka owa Katikkiro era Minisita w'obuyiiya n'enzirukanya y'emirimu, Oweek Prof. Twaha Kigongo Kaawaase asanyukidde ekya abagoba ba bodaboda okwenyigira obutereevu mu kulwanyisa omusujja gw'ensiri kyokka n'abasaba okugoberera amateeka g'okunguudo okusobola okukendeeza ku bubenje obuviiriddeko bangi okufa n'abalala okufuna obulemu.
Agamba nti Uganda okubeera namba 3 mu nsi ezisingamu omusujja gw'ensiri kyennyamiza nnyo era kino kiraga nti buli muntu avunaanyizibwa ku nsonga eno.
"Bwotafa musujja, gusobola okukulemaza obwongo, okukulwaza ekibumba, ensigo oba okunafuya obutafaali bw'omubiri nabwekityo bulijjo genda mu ddwaliro okeberebwe nga ofunye obubonero bw'omusujja guno obutasukka ssaawa 24".
Dr Daniel kyabayinze atwala ebyobujjanjabi obw'olukale mu Minisitule y'ebyobulamu nga yakiikiridde omuwandiisi ow'enkalakkalira mu Minisitule y'ebyobulamu mu gavumenti ya wakati, Dr Dianah Atwine, agamba nti yadde bataddewo enteekateeka ezenjawulo okulwanyisa omusujja gw'ensiri kyokka tewanabaawo kyamaanyi kituukiddwako mu kulaba nga omusujja guno gufuuka lufumo mu Uganda.
Omumyuka wakatikiro asooka nga ayogeralako eri aba boda boda
Kyabayinze agamba nti mu kiseera kino omusujja guno guli waggulu naddala mu Buganda nga abantu abali eyo mu 6000 be bafa buli mwaka omusujja gw'ensiri nga be bantu 14 abafa buli lunaku kyagambye nti kino kiraga obwetaavu obuliwo buli muntu afungize obulwadde buno ba bulinnye ku nfeete.
Minisita w'enkulaakulana y'Abantu era avunaanyizibwa ku by'obulamu, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, asabye abantu okukomya obugayaavu eri obulamu bwabwe, bafeeyo ku nsonga z'obulamu bwabwe olwo n'ebitongole byongereze okwo.
Dr. Richard Kabanda Ssentebe w'akakiiko k'olukiiko ak'ebyobulamu, ayagala aba boda boda basasaanye enjiri yokulwanisa omusujja gw'ensiri okusinga emboozi z'ebyobufuzi. Wabula asabye bettanire okugenda okukeberebwa nga tebannalwala.
Okusinziira ku Minisitule yebyobulamu, waliwo enteekateeka yokugema bannansi omusujja gw'ensiri nga basuubira okutandika mu mwezi gwa museenene.