Oweekitiibwa Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja kudyo nga ali Dubai.
Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n'ekikula ky'Abantu, Oweekitiibwa Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, yakiikiridde Obwakabaka mu lukungaana lw'ensi yonna olukwata ku byobutondebwensi, embeera y'obudde, COP28, mu kibuga Dubai mu United Arab Emirates.
Mu kiseera kino batunuulidde engeri abantu ba bulijjo gyebasobola okufuna n'okuganyulwa mu nsimbi ezigabwa aba World Wildlife Fund okukuuma obutondebwensi.