donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Kaweefube wokutumbula eby’obulimi mu Buganda agenda mu maaso nga akulembedwamu Katikkiro

Kaweefube wokutumbula eby’obulimi mu Buganda agenda mu maaso nga akulembedwamu Katikkiro
Image

Katikkiro nga asimba omutti e Mukono

Mu kaweefube wokunnyikiza eby'obulimi mu Buganda Kingdom , Katikkiro alambudde ebifo by'obulimi ebikulirwa ekya National Agricultural Research Organisation (Naro), okulaba engeri gyebakolamu okunoonyereza kwabwe.

Kamalabyonna akubiriza abantu okwemanyiiza okulimira n’okulundira awafunda bave mu nkola eyedda ey’okumala okufuna ettaka ddene.

Agambye nti omulembe guno tulina kutetenkanyiza ku katono ketulina.

Mu ngeri yeemu Katikkiro alambudde e kituuza Mukono (Nacori) ku kifo webanoonyereza ku kirime ky’emmwanyi ekya National Coffee Research institute.

Bakyaddeko ne ku Mukono Zonal Agricultural Research and Development institute (Muzardi), ekifo webaaluliza enkoko, eby’ennyanja, n’ebimera ebirala,  wamu n’okusomesa abantu okulimira awafunda.

Alambudde National Livestock resources and research institute Namulonge, ne National Agricultural Research Laboratories e Kawanda.

Katikkiro nga alambula edundiro lyente  e Namulonge

Katikkiro nga alambula edundiro lyente e Namulonge

Kino kijjakuyamba ebitolngole by’obwakabaka eby’obulimi nga BUCADEF okusobola okuyigira ku bitogole bya gavumenti binno n’okuyamba omulimi wawansi okwe kulakulanya.

Awerekeddwako Owek Hajji Amisi Kakomo, Oweek Israel Kazibwe n’abakungu ba BUCADEF.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK