Abakulembeze b’obwakabaka nga bali ne oweek Joseph Kawuki
Mu kaweefube wokunyweza obukulembeze bw'obwakabaka okuviira ddala ku mutendera ogusookerwako okutuuka waggulu, Obwakabaka nga buyita mu Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, bubakanye n'eddimu ery'okubangula, okulambika, n'okulambula entambuza y'emirimu mu Masaza ng'essira liteekeddwa ku mutendera gw'e Ggombolola.
Ssabbiiti eno kaweefube ono atwaliddwa mu Ssaza Bugerere, nga webutuukidde olwa leero, Minisita Kawuki asisinkanye abaami b'e Ggombolola Mutuba 1 Kitimbwa, Ssaabawaali Galiraya, ne Ssaabaddu Bbaale.
Oweek Joseph Kawuuki ng'asomesa abakulembeze b'amagombolola mu sazza Bugerere
Abaami bano baloopedde Minisita Kawuki engeri gyebatambuzaamu emirimu, ebituukiddwako, ebibasomooza, n'engeri yokubisaliramu amagezi.
Minisita Joseph Kawuki, obubaka bwe eri abaami bano abutambulizza ku kubeera abayiiya bakozese bulungi woofiisi zaabwe mu bunyiikivu, obuteekubagiza, boolese ekifaananyi kyobukulembeze mu bebakulembera nga babatuusaako amawulire amatuufu agava embuga olwo abasekeeterezi babulweko kyeboogera.
Wabula abasabye bajjeyo nag'omubuto bangange butereevu abo abavvoola Nnamulondo era ba baboole kibawe ekyokuyiga nti Kabaka mwennyango teguzannyirwako.
Abaami abaggya ku mutendera gw'Omuluka n'obutongole mu Ggombolola Ssaabwaali Galiraya baweereddwa ebbaluwa zaabwe ezibakakasa ku buweereza buno.
Okulambula kuno kugendereddwamu okunogera eddagala ebizibu ebitawaanya ebitundu bya Buganda okusobola okuleetawo obumu mu bantu ba Buganda.