Baminister bakabaka wamu ne banadiine nga batongoza enteeka teka eno
Ssaabasajja Kabaka akubirizza abantube okuddamu nate okwenyigira mu kaweefube w'okugaba omusaayi mu Masaza.
Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Minisita wenkulaakulana y'Abantu era avunaanyizibwa ku by'obulamu, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko, ku mukolo gw'okuteekateeka okuddamu okugaba omusaayi oguyindidde ku Bulange enkya ya leero.
Ssaabasajja agambye bwati;
"Twebaza nnyo ekitongole kya Uganda Red Cross ne Uganda Blood transfusion Services, olwenkolagana ennungi gyebalina ne Kabaka Foundation mu nteekateeka yokukungaanya omusaayi.
Ng'Obwakabaka nga tuyita mu Kabaka Foundation twasalawo okwegatta ku Gavumenti ya wakati okulwanyisa ebbula lyomusaayi mu malwaliro.
Tukubiriza abantu baffe okujjumbira okugaba omusaayi okusobola okutaasa abakyala 18 abafa buli lunaku nga bazaala awamu naabo abafunye obubenje, nabantu abalina obulwadde bwa Nnalubiri.
Twebaza nnyo ebitongole ebizze okuwagira enteekateeka eno era tukubiriza ebitongole ebirala okuwagira enteekateeka eno tujjewo ebbula ly'omusaayi mu ggwanga lyaffe".
Ssaabasumba wa Kampala, Archbishop Paul Ssemogerere, akubirizza abavubuka okwenyigira mu kaweefube ono kubanga omusaayi gwabwe gukyali gwa maanyi, era yebaziza abo abazze bawaayo kubanga beewayo.
Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Oweek Christopher Bwanika, yeebazizza olulyo Olulangira olwokwetaba mu kaweefube wokugaba omusaayi nekiwa abalala eky'okulabirako.
Oweek Bwanika alaze ebintu ebinaasaasanyizibwako ensimbi ezeetaagibwa okuddamu kaweefube w'okugaba omusaayi, omuli, entambula, okukunga abantu, ebyensula, okulya, nebiringa ebyo.
Ku mukolo gwe gumu bannamikago n'ebitongole eby'enjawulo biwadde obweyamo okuwagira kaweefube w'omulundi guno.