Katikkiro nga amaze okubalibwa nga ali nabakozi ba UBOS
Mu nteekateeka y’okubala abantu egenda mu maaso mu ggwanga ne katikkiro wa Buganda agye tabyemu.
Mu nteekateeka y’okubala abantu egenda mu maaso mu ggwanga, olwa leero abatwala ebyokubala abantu mu Wakiso District bakedde mu maka ga Katikkiro e Lweza nebamubala wamu n'aboomumakaage nga bakulembeddwamu, Geoffrey Kirabira, Nakiboneka Josephine, ne Arafat Kibirango.
Bamubuuzizza ebibuuzo eby'enjawulo era ategeezeza nti bibadde bya mugaso kubanga Gavumenti yetaaga okumanya wetandikira mu kuteekerateekera abantu mu ngeri ezenjawulo era akubirizza abantu bakkirize babalibwe.
Wabula asabye abantu obutateeka bya bufuzi mu nteekateeka eno nti kino kijja kufeebya ekigendererwa ky'okubalibwa.