Okuva ku kono Bsp Jumba Nabagereka owmi n'omuky Yiga Katikkiro n'omukyala Bshp Semwogere nabasumba abalala
Katikkiro yeetabye ku mukolo gwokuggulawo ekizimbe ki Avelino Water Front ekyazimbibwa omusirikale wa Paapa Joseph Yiga n'Omukyala e Buwaya era mubigambo bye ayogedde bwati ''Nkulisa Mw. Joseph Yiga n'Omukyala olw'okumaliriza ennyumba gyebazimbye e Kasanje Buwaya.
Mw. Yiga musajja mukozi nnyo era ennyumba eno ne kkampuni ye eya Steel & Tube bibala ebyoleka ekyo. Tusaana okumanya nti ebirungi biva mu kukola obutaweera Tubaagaliza birungi mu maka gano.''
Ssaabasumba wa Kampala Archbishop Paul Ssemogerere yakigguddewo mu butongole.
Omukolo gwetabiddwako, Nnaabagereka Sylivia Nagginda, Omulangira David Kintu Wasajja, Omutaka Nsamba ow'Ekika ky'Engabi, owessaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, abakungu n'Abaami ba Kabaka ku mitendera egy'enjawulo.