Katikkiro nga asiima abanabugerere abarese oluwalo
Okutikkula oluwalo okuva mu Masaza Buddu, Busiro ne Bugerere agakiise Embuga. Eggombolola ezikiise kuliko: Mut. III Bukulula, Mut. III Mukungwe, Ssaabaddu Katabo ne Mumyuka Kayunga.
Minisita wa Gavumenti ez'Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, Minisita Noah Kiyimba, ne Minisita Israel Kazibwe Kitooke, bawerekeddeko Katikkiro.
Katikkiro ne baminisita abamuwerekeddeko
Bw’abadde mu kutikkula oluwalo okuva mu bantu ba Kabaka ab'e Buddu, Bugerere ne Busiro, abakiise Embuga n'ensimbi ezisobye mu bukadde 58.
Katikkiro Charles Peter Mayega agamba nti kano kabonero akalaga ebibala bya Emmwanyi terimba era akubirizza abantu obutaggwamu maanyi ku kulima emmwanyi olw'ebyo ebigenda mu maaso.