
Nankulu Macrina Nakuya Nkonge bwabadde afaanana mu bulamu
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde obwebaza eri bonna abamuddukiridde mu kiseera eky’okufiirwa kwa mwannyina, Macrina Nakuya Nkonge Nankulu.
Mu bigambo bye, Katikkiro yagambye bw’ati:
"Ku lwange ne ku lwa b’enju ya kitaffe, Cyprian K. B. Mukasa, nneebaza mwenna abaatuziikiddeko mwannyinaffe, Macrina Nakuya Nkonge Nankulu, e Kayanja, Lwaggulwe, Buddu, eggulo nga 18 Feb 2025.
Bp. Serverus Jjumba; Msgr. Charles Kasibante (ku lwa Ssaabasumba Ssemogerere); abasaserdooti ne bannaddiini; abakulembeze mu Gavumenti ya Kabaka; ababaka ba Palamenti n’abakungu ba Gavumenti eya wakati; Omutaka Namugera Kakeero; ab’emikwano n’abako – mwenna tubeebaza nnyo okujja, essaala n’obubaka, amabugo, n’obuyambi obw’enjawulo. Twabisiimye nnyo.
Byonna byatugumizza, era tusaba Katonda abawe omukisa, ne Nankulu amuwe ekiwummulo eky’emirembe!"

Oweek. Katikkiro nga ayaniriza Bishop Jjumba eyakulembeddemu okusaba
Katikkiro yannyonnyodde nti Macrina Nakuya Nkonge abadde omuntu ow’amagezi era omutegeevu, eyakoze kinene mu kulabirira aba famire n’okubayamba mu ngeri ez’enjawulo.
"Tumusiibudde ne tumugalamiza mu nju ye ey’olubeerera. Twebaza Katonda olw’obulamu bwe n’eby’amukozesezza, era twagala okumwebaza olw’okutulabirira nga mukulu waffe. Yatubeerera eky’okulabirako mu nsonga ez’enjawulo, era singa si ye, abamu ku ffe temwanditutegedde.
Mukwano gwaffe tugenda kumusubwa nnyo, era tusaba Katonda amuwummuze mirembe.”