Abakungaanye mu Buganda Bumu 2023, ku Hyatt Regency Hotel, e Seattle, mu Amerika olwa leero.
Abasabye bayige okwewummuzaamu wakati mu mirimu emingi gye bakola, n'abeebaza obujjumbize n'okwagala enteekateeka z'Obwakabaka.
Akikkaatirizza ng'enteekateeka eno bwegendereddwamu okugatta abantu ba Beene ababeera ebweru n'okubayamba okutambulira awamu ne Gavumenti ya Kabaka e Mengo.
Abayitiddemu ku bituukiddwako mu myaka ekkumi gy'amaze ku Bwakatikkiro, ebiyambye Obwakabaka okugenda mu maaso.
Mu kusooka, Oweek. Joseph Kawuki, yakiikiridde Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, n'ayogera ku mbeera y'ebyenfuna mu Bwakabaka n'obuwanguzi obutuukiddwako, ate n'obuvunaanyizibwa bwa buli muntu mu kuzza Buganda ku ntikko.
Omukolo gubaddemu okwolesa ebitone eby'enjawulo okukoleddwa emiti emito egy'omukitundu kino.
Omulangira David Kintu Wasajja, Abataka Ab'Obusolya, Baminisita, ababaka ba Palamenti, abaami ba Kabaka okuva mu masaza g'ebweru, n'abantu abalala bangi beetabye ku mukolo guno.
Oluvannyuma Katikkiro agaddewo olukungaana, so nga olw'omulundi oguddako mu 2025, lwakutegekebwaGgwangamujje, e Boston.

Katikkiro nga ayogerako eri abantu b’a Kabaka e Seattle.
