Mukyala Dariah Buule ng'abuulira Katikkiro engeri gy'alabiriramu emmwanyi
Katikkiro Charles Peter Mayiga ali mu Ssaza Kabula, alambula abalimi be mmwanyi, era akubiriza abalala okwettanira okuzirima bagobe obwavu.
Bwatuuse ku kyalo Rwanayongo, Katikkiro alambudde ennimiro y’emmwanyi eya Mukyala Dariah Buule, eyalimira ku yiika 11.5. Akozesa ebyuma okulembeka amazzi gaakozesa okufukirira ennimiro ye.
Kamalabyonna asinzidde wano n’akuutira abakola emirimu gya woofiisi okufissaawo akadde bagendeko mu nnimiro zaabwe basobole okuteekerateekera obukadde bwabwe.
Ye Mukyala Dariah Buule yebazizza nnyo Katikkiro olw'okubakuutira okunyiikira okulima emmwanyi kubanga abazirime bafunye ebirungi bingi.
Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke asabye emikutu gy'amawulire okwongera okusasaanya amawulire agakwata ku mmwanyi n'ebirungi ebizirimu.
Wano Katikkiro sabye abayivu okuwa obudde ennimiro zaabwe kibayambe okutegeka ebiseera byabwe eby'omumaaso.
E Nakasozi ewa Lazalous Kinywawamacunda, nannyini Kinywa-coffee gardens, alimiria ku yiika 60.
Ono yali awangaalira mu America eyo gyeyava n'akomawo okwabwobwe n'atandika okulima emmwanyi oluvannyuma lwokuwulira kaweefube wa mmwanyi terimba nga ayogerwako nnyo ku mikutu gy'amawulire kati emyaka 3 ng'ali mu nsiike y'okulima emmwanyi.
Oweek Katikkiro nga ali ne Lazalous Kinywawamacunda bwe yabadde alambula ennimiro ze
Aloopedde Katikkiro nga bwe balina okusomoozebwa kw'okubangulwa abakugu mu by'e mmwanyi ekiviiriddeko abamu okufiirizibwa olw'obutamanya, kwe kuvaayo neeyebaza omulimisa w'obwakabaka atwala e Ssaza Kabula Mw. Francis Gaanya akoze obutaweera okubalaga eky'okukola ekitambula n'omutindo ogwetaagibwa mu katale ke mmwanyi.
Kamalabyonna mu ku mwanukula, akubirizza abantu bakozese ettaka lyonna lyebalinawo tebafaayo ku bunene oba katono oba ddene wabula batandike bagaziye mpola mpola.
Ku kyalo Buyanja, Katikkiro asisinkanye ekibiina ky'abalimi b'Emmwanyi abalimira ku ttaka lya Mw. Albert Muganga era alambudde omusiri gw'emmwanyi gwa yiika 50 era ziyambeko abantu bangi ku kyalo okwekulaakulanya.
Wano Katikkiro yeebazizza Mw. Muganga olw'okulumirwa embeera z'omuntu wa bulijjo. Bwobwa omwavu nokaaba bukaabi obwavu tebusobola kuwona, nga tolina ssente nogamba nti ffe ensi twajivaako nodda mu kunywa omwenge obeera nga eyeesimidde entaana.
Naye buli muntu Katonda yamuwa obusobozi okukyuusa embeera mwali kasita akola ekintu ekituufu. Asinzidde wano n'asaba abakozi abalimira ku ttaka lya Mw.
Muganga abeegattira mu kibiina kya Kabula Coffee Farmers association babeere nobwesigwa, batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe, era n'akinogaanya nti ebibiina by'obwegassi biyimirirawo ku bwesigwa era obulamu busobola okukyuusa kasita wabeerawo obwesigwa.
Albert Muganga ategeezezza Katikkiro nti alina okwolesebwa nti omuntu bwaba alina ennyingiza nga nnungi nga amanyi eky'okukola nga yekuusa kwebyo byalabye bikolebwa ku faamu ya Muganga, aba asobola okugenda n'abikolera awalala neyekulaakulanya ng'omuntu kubanga ekizibu ssi ssente wabula endaba y'ebintu n'engeri y'okufuna okwolesebwa okwewala.
Katikkiro nga alina baminisita abamuwerekeddeko mu Kabula County
Mu lugendo luno Katikkiro awerekeddwako Baminisita; Oweek. Hajji Amisi Kakomo, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Ssentebe wa bboodi ya bucadef Dr. Ssekamatte, n'abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna mu Kabula.