Omuyimbi Spice Diana (ku ddyo) ng'ayimba ku siteegi
“Obumalirivu butuusa ku buwanguzi.”
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza bannabitone nti balina bulijjo okubeera abamalirivu mu byebakola balyoke bawangule era bayitimuke.
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, yebazizza omuyimbi Spice Diana olw'okuwaayo obudde n'akuza ekitone kye wakati mu mbeera esoomooza gye yayitamu ng'atandika.
Katikkiro alabudde bannabitone ku buvuyo n'okulwana kwe batandise ennaku zino, by'agambye nti bijja kutta omulimu gwabwe, abantu batandike okutya okugenda mu bivvulu byabwe olw'effujjo eribeerayo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ne mukyala we nga beetabye mu kivvulu kye Spice Diana
Asiimye Abayimbi Abaggya
Katikkiro agamba nti newankubadde waliwo okusomooza kuno waliwo abayimbi abaggya abaleese ebitone eby'enjawulo nga Nandor Love Dax Vibes , Ava Peace n'abalala era abasabye ekitone kyabwe okukitwala nga mulimu ddala okusobola okukifunamu.
Enteekateeka y’Ekivvulu
Katikkiro asiimye nnyo enteekateeka y’ekivvulu kya Spice Diana kye gambye nti kibadde kya kitiibwa era kiraga nti abategesi baawaddeyo obudde okukola ekintu ekirungi.
Omusiime Measach Ssemakula, omuyimbi omutendeke, y’omu ku bayimbi abaasangiddwa ku Serena Hotel okuwagira Spice Diana ku kivvulu kye eky’emyaka 10.
Mu kivvulu kino, Katikkiro abadde n'Omukyala we ne Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga Ssaalongo, ne Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke.