
Owek. Katikkiro Charles Peter Mayiga, nga ayambadde bulungi era ng’amwenya, ajaguza emyaka 12 gy’amaze mu ofiisi
Leero, ennaku z’omwezi 12 May, 2025, giweza emyaka 12 bukya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ku lunaku lwa 12 May, 2013, yayatula erinnya lya Charles Peter Mayiga n’amukwasa Ddamula okubeera Katikkiro ow’okutaano ku Mulembe Omutebi.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yayingira mu bigere bya Owek. John Baptist Walusimbi.
Mu bubaka bwe eri abantu ba Kabaka, yagambye nti: “Twebaza Katonda atutuusizza ku lunaku luno.”
Mu myaka gino 12, Katikkiro Mayiga yalambika enkola ey’omulembe omuggya etambulira ku Nsonga Ssemasonga 5 ezaayisibwa Olukiiko lwa Buganda:
- Okukuuma, Okunyweza n’okutaasa Nnamulondo
- Okugabana obuyinza mu nkola ya Federo
- Okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda
- Okukola obutaweera
- Okukuuma Obumu

Mu nteekateeka zino, Katikkiro akuumye ekitiibwa kya Namulondo omuli okuddaabiriza embiri — nga Kireka, Bamunanika, n’olwenkoni.
Enkola y’Ettoffaali
Katikkiro yatandikira ku kulambula amasaza gonna agali ku lukalu ne ku mazzi, mu Uganda n’ebweru waayo, n’ekigendererwa eky’okumanya embeera abantu ba Ssaabasajja mwebawangaalira, n’okubategeeza agafa embuga.

Katikkiro Charles Peter Mayiga nga bamuyozaayoza mu ssanyu; ku kkono ye mukyala we, naye ng’ajjudde essanyu
Mu kulambula kuno, abantu ba Kabaka baamutikkanga ensimbi ezaatuumibwa “Ettoffaali”, era ng’ensimbi zino zezaakozesebwa okumaliriza ekizimbe kya Masengere.
Okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi
Mu nkola y’Ettoffaali, Obwakabaka bwasonda ensimbi ez’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi, agateekebwa omuliro mu 2010. Katikkiro azze akyogera lunye nti omulimu guno gukolebwa mu nkola egoberera ennono n’obulombolombo.
Yoogayoga nnyo Mukuumaddamula, muzzukulu wa Namugera Kakeeto ey’eddira Omutima, Owek. Charles Peter Mayiga