donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro Mayiga atongozza enkola ya luwalo lwaffe 2025

Katikkiro Mayiga atongozza enkola ya luwalo lwaffe 2025
Katikkiro Mayiga (ku kkono) ng’akuba eng’oma nga Minisita Kawuki amutunulidde mu kutongoza luwalo lwaffe 2025

Katikkiro Mayiga (ku kkono) ng’akuba eng’oma nga Minisita Kawuki amutunulidde mu kutongoza luwalo lwaffe 2025

Bulange, Mmengo – Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga, atongozza enteekateeka ya Luwalo Lwaffe 2025 nga ayita abantu ba Buganda okwongera okuwagira emirimu gy'Obwakabaka okuyita mu kwetaba mu kaweefube ono.

Katikkiro yatuuse ku Bulange, Mmengo mu bimuli, nga mu lujjudde lw’abantu, era yabadde awerekeddwako Minisita Oweek. Joseph Kawuki, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, ne Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, wamu n'Abaami ba Masaza.

Mu bubaka bwe, Katikkiro yebazizza abantu ba Buganda olw'okuwagira enteekateeka ya Luwalo Lwaffe, eyayambye okutumbula embeera z'Abaganda. Yagambye nti enteekateeka eno eyambye mu mirimu mingi gy'Obwakabaka, okuli Emmwanyi Terimba, okusasula amazzi ge kizimbe Bulange, ensiisira z’ebyobulamu, okulwanyisa obwavu, eby'enjigiriza, n'ebirala.

Mu kutongoza kuno, enkola ya "Tondeka mu Luwalo" esimbiddwa mu maaso, era abazze bakozesa obuvumu mu kaweefube ono, babanguddwa.

Abasinze okuwayo mu luwalo lwaffe 2024

Kamalabyonna Mayiga agambye nti, mu mwaka guno 2025, abantu ba Buganda bakuutiddwa obutakoowa, kubanga buli kirungi kiva mu ntuuyo. Ekyalo Kaaso mu Ggombolola Ssaabwali Gombe (Kyaddondo) kye kisinze okuwayo, ate Enju ya Cyprian Mukasa e Kasanje (Ssaabwaali Bukoto) yasinze okuwayo ssente ennyingi ezaawera 1.10m.

Katikkiro Mayiga ne Baminisita wamu n’Abaami ba Masaza mu kutongoza luwalo lwaffe 2025

Katikkiro Mayiga ne Baminisita wamu n’Abaami ba Masaza mu kutongoza luwalo lwaffe 2025

Ggombolola ezisinga okuwayo mu 2024 ze ziriko:

  • Mumyuka Nakawa (Kyaddondo)
  • Ssaabagabo Ntuusi
  • Ssaabaddu Mateete (Mawogola)
  • Ssaabaddu Kapeeka (Bulemeezi)
  • Ssaabaddu Kalisizo (Buddu)

Leero zokka zirese obukadde 47.

Minisita wa Buganda ku nsonga za Gavumenti, Oweek. Joseph Kawuki, agambye nti ebigambo by’abaseeketerezi byayongera amaanyi eri abantu ba Kabaka, nebatatenguka, ekituusizza ku buwanguzi bwa Luwalo Lwaffe olusobye mu kawumbi kamu n’obukadde lukaaga mu nsanvu (1.676bn).

Katikkiro ayagala gavumenti ekole ku nsonga za Besigye

Mu kwogera kwe, Katikkiro Mayiga asabye Gavumenti okwongera okutwala amateeka mu maaso mu ngeri ey’obwenkanya. Alaze obwennyamivu olw’okukuuma Dr. Kizza Besigye mu kkomera nga mulwadde, nga kino kiwa Uganda erinnya eribi.

Yagambye nti amateeka galina okukwatibwako mu ngeri entuufu, era obwenkanya bwe bulina okussibwamu essira. "Ensi bwe beeramu amateeka ekula nnyo. Awo we waba obwenkanya n’eddembe ly’obuntu," bwatyo Mayiga bwe yannyonnyodde.

Katikkiro yakubirizza abantu ba Buganda obutava ku mulamwa, wabula okukwatagana ne Buganda okuyita mu mirimu gyaayo egibayamba okutumbula obulamu bwabwe.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK