
Abakulembeze abaggya nga bali ne Katikkiro wamu n’omuyima wabwe, Omulangira Wasajja
Omulangira David Kintu Wasajja, Baminisita ba Kabaka, Bassenkulu b’ebitongole, n’abantu abalala batuuse ku mukolo gw’okukyusa obukulembeze bw’Abavubuka mu Buganda, ogutegekeddwa mu luggya lwa Bulange.

Abakulembeze nga bakuba ebilayiro
Katikkiro asabye abakulembeze abaggya okujjukira nti Ssaabasajja Kabaka yabakwasa omulembe gwe, era abakuutidde okuzimba obukulembeze mu bavubuka bannaabwe okuviira ddala mu byalo, okulwanyisa ebiragalalagala, n'okunyweza ensonga za Buganda — ssemasonga ettaano.
Abakulembeze abalondeddwa bakubye ebirayiro okutandika obuvunaanyizibwa obuggya bwe baweereddwa. Ssentebe awummudde ye Mw. Ssejjengo Baker, ate munnamateeka Derrick Kavuma ye Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda omuggya.