Rotary 9213 District Gavana Anne Nkutu nga abulira Katikkiro etekateka ya Rotary ey’okukuuma obutonde bw’ensi
Obwakabaka busanyukidde enteekateeka za Rotary kubanga zikwata ku mbeera z'abantu ba bulijjo. Bino byogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwabadde asisinkanye Muky. Anne Nkutu Gavana wa Rotary District 9213, n'abakulembeze ba Rotary mu Uganda ku mbuga e Mmengo, abazze okumwanjulira enteekateeka y'okusimba ekibira kya Kabaka mu bifo eby'enjawulo n'emiramwa egyenjawulo gyebagenda okutambulirako mu kisanja kino omuli nogwokudduka emisinde gy'okulwanyisa kookolo (Rotary Cancer Run) nga 25 August.
Kamalabyonna agamba nti emiti kitundu ku butondebwensi era obutondebwensi kye ky'obugagga ekisinga omuwendo Katonda kyeyawa Africa era singa kikozesebwa bulungi Africa esobola okuba engagga nokusinga amawanga amalala.
Katikkiro nga atongoza emisinde gya Rotary ku Bulange
Bwatyo yeebazizza Rotary olwokutunuulira ebintu ebikosa obulamu bw'abantu nebabinogera eddagala.
Alaze obwennyamivu olwa bamusiga nsimbi abazimba amakolero mu ntobazi, ate nga ensimbi bazirina ezisobola okugula ettaka ku lukalu. Bino bye bimu kwebyo ebisinga okukosa obutondebwensi nebutuuka nokusaanawo.
Kulwa Ssentebe w'olukiiko olukwanaganya enteekateeka za Rotary mu Bwakabaka Oweek Ahmed Lwasa, obubaka bwe abuyisizza mu Oweek Robert Waggwa Nsibirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka ate nga yaliko President wa Rotary mu Uganda, anokoddeyo nti mu bbanga lya myaka etaano basobodde okusimba ekibira ky'emiti e Buikwe ne mu bitundu era nga kati baakyuusa enkola, tebasimba busimbi miti wabula bajirima.
Gavana Anne Nkutu, ategeezezza nti bavaayo ne kaweefube wokusimba ekibira kya Kabaka oluvannyuma lwokukizuula nti obutondebwensi bwonooneddwa nnyo era n'embeera y'obudde ekyuukakyuuka yandiba nga ereetebbwawo ensonga y'okutyoboola entobazi, okutema emiti, n'ebiringa ebyo.
Teddy Nabakooza Galiwango, omukwanaganya w'Obutondebwensi mu Bwakabaka, annyonnyodde enteekateeka y'ekibira bwenaabeera nga mu kifo kino mwa kubeeramu emiti egya buli kika naddala egyo gi Nansangwa egivaako eddagala, ebyokulya, ebibala, era buli Kika kyakubaamu n'omuti gwakyo.