H.E. Lisa Chesney ng’ali ne Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kulambula okw’ekitiibwa e Bulange, Mmengo
Omubaka wa Bungereza mu Uganda, H. E. Lisa Chesney MBE, akyaddeko embuga okusisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga babeeko bye boogerako ku by’okunyweza enkolagana wakati wa Buganda ne Bungereza.
Ayaniriziddwa Minisita w’Ettaka n’Ebizimbe, Oweek. David Mpanga, n’akulira eby’Abagenyi mu Bwakabaka, Omuk. David Ntege. Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, Katikkiro Mayiga agambye nti enkolagana eno ejja kuyamba okutumbula embeera z’abavubuka mu Buganda ne Uganda, ng’okusitula eby’enfuna n’okubangula abantu mu by’emikono bituukirizibwa.
Mukuumaddamula Mayiga amulambuzizza ekizimbe kya Bulange n’ekisenge ky’Olukiiko ekiteesezebwamu era namuyitira mu byafaayo byakyo ebitonotono.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’alambuza H.E. Lisa Chesney e Bulange, ng’amunnyonnyola amakulu n’ebyafaayo by’akabaga
Mu lukuŋŋaana, Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bulina enkolagana ennungi ne Bungereza okuva ku biseera eby’edda, era n’ajjukiza endagaano eyakolebwa wakati w’Omulangira Edward Duke of Edinburgh n’Obwakabaka bwa Buganda.
Katikkiro Mayiga anokoddeyo eky’omulembe guno Omutebi okuba nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka yaguwa bavubuka nga kino kitambula bulungi n’ebyo Bungereza byeyawera okussaako essira ng’ekiise embuga.
Omubaka Chesney naye akaatirizza obukulu bw’enkolagana eno, n’agamba nti Bungereza ejja kwongera okussa essira ku nsonga z’okutumbula obutonde bw’ensi, okutumbula embeera z’abavubuka, n’okukuuma enkolagana ennungi.
Okuva ku kkono: Owek. David Mpanga, Omubaka wa Bungereza H.E. Lisa Chesney, Katikkiro Charles Peter Mayiga, n’Omukungu okuva mu Bungereza e Bulange, Mmengo
Mu kwogerako eri bannamawulire, Katikkiro agambye nti kino kiraga enkolagana eyawandiikibwa mu byafaayo era nga kitegeeza nti eby’okuteekawo emirimu, n’okutumbula abantu ba Kabaka, byongedde okunywezebwa.
Ambasada Lisa Chesney yawerekeddwako abakozi okuva ku kitebe kya Bungereza okuli Steven Bickers ne Keith Mutebi. Kino kyonna kibadde kigendereddwa mu kwongera okukola enkolagana ey’omutindo wakati wa Buganda ne Bungereza.