Katikkiro yabadde asisinkanye abamu ku bakulembeze b’abavubuka ab’ekika ky’Omutima Omuyanja
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebika mu Buganda okusoosowaza abavubuka mu bifo by’obukulembeze, ng’omu ku kaweefube w’okuzuula n’okuzimba abakulembeze abalimu ensa.
Olukiiko olukulembera abavubuka mu Kika ky'Omutima Omuyanja, lusisinkanye Katikkiro ne lumwanjulira enteekateeka zaabwe ez'okwekulaakulanya. omukolo gubadde mu Butikkiro e Mengo.
Katikkiro yabadde n’abakulembeze b’abavubuka ab’ekika ky’Omutima Omuyanja
Ssalongo Kiwutta Robert Ssenkasi Kakeeto, Ssentebe w'abavubuka mu Kika ky'Omutima omuyanja, nga yakulembeddemu olukiiko luno, agambye nti ezimu ku nsonga ezireese ewa Katikkiro kuliko;
Okweyanjula nga abakulembeze b'Abavubuka mu Kika Katikkiro mwava, Okumusiima emyaka 10 nga akutte ddamula, Okuyunga olutindo wakati wabavubuka mu Bika bya Buganda ne Gavumenti ya Kabaka.
Mu bubaka bwe, Katikkiro abategeezezza nti,
>). Basaana okwenyigira mu nteekateeka z'Ekika mu myaka gyabwe egy'e kivubuka.
>). Batuule nga mu nkiiko z'ennyiriri, amasiga n'Ebika.
>). Beenyigire mu kusoma, babeere bayiiya, era beewale okwekubagiza.
>). Asabye abavubuka mu Buganda bakole emirimu nga beesimbu.
Abasiimye olwokwesowolayo okuweereza ekika Kyabwe.
Nga bazzukulu ba Namugera Kakeeto, abasabye bateeke amaanyi mu kuzimba ekizimbe ky'Ekika ku ttaka lye Mutundwe.
Katikkiro mungeri yeemu asabye abavubuka mu Kika ky’Omutima Omuyanja okukolerera Obukadde bwabwe nga bakyaali bato,okumanya ennono n’Obuwangwa , ate n’Okwagazisa abaana Obwakabaka.
Ensisinkano ebadde mu Butikkiro e Mmengo.
Katikkiro wa Buganda yabadde atongoza ekitabo ky’ekika ky’Omutima Omuyanja
Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, akubirizza abavubuka okubeera abatetenkanya, bakyuuse endaba y'ebintu kibasobozese okwekulaakulanya. Abakuutidde okukulembeza obwesigwa mu mirimu gyebakola era asabye abavubuka okubeera n’Omutima ogwaagaliza, n’okukolera awamu okwekulaakulanya.
Ssentebe w’abavubuka mu kika ky’Omutima Omuyanja Ssaalongo Ssenkasi Robert Kakeeto , asabye abavubuka mu Bika bya Buganda ne mu Bukulembeze b’Obwakabaka okukolera awamu okumalawo ebibasomooza, omuli ebbula ly’emirimu, okwettanira okusoma , n’Okunyweeza Obwerufu.