donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro Mayiga asisinkanye abakulembeze b’Essaza Buwalabu ku Sheraton Creek Hotel e Dubai

Katikkiro Mayiga asisinkanye abakulembeze b’Essaza Buwalabu ku Sheraton Creek Hotel e Dubai
Katikkiro ng’ali n’abakulembeze b’Essaza Buwalabu.

Katikkiro ng’ali n’abakulembeze b’Essaza Buwalabu.

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantube mu Buwarabu okwongera okunyweeza obumu, okumanya ebibasomooza, n'okubikolerako mu mukwano ogutaliimu bukuusa.

Mu bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka bwaatisse Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kuggulawo olukuŋaana lwa Buganda Bumu Arab and Asian Convention 2025 mu Dubai, Empologoma egambye nti abantu ba Buganda tebalina kintu kyonna kisaanye kubaawula.

Ssaabasajja mungeri yeemu ajjukizza abantube nti Ensi Buganda nungi ebitagambika, era naawa abantu amagezi babeeko byebakoppa ku mawanga gyebali babizze mu Buganda ne Uganda yonna. Era akubirizza abantu ba Buganda mu mawanga gonna obutakkiriza kwawulwayawulwaamu bannakigwaanyizi.

Bano abakubirizza okubeera abanywevu mu bukulembeze era n'okukulembereranga mu maaso. Akikaatirizza nti obukulembeze buyitibwa emirimu, ssi bitiibwa; era ebitiibwa biva ku mirimu gy’atuukiriza. Akinogaanyizza nti omukulembeze bw’akola obulungi emirimu, afuna abamwogerako ebikikinike n'ekigendererwa eky'okumujja ku mulamwa. Kyokka bwalemwa, ayinza okufiirwa obwesige kubanga ettutumu liwanirirwa mirimu gy'omuntu.

Minisita wa gavumenti ez'Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, ategeezezza abakulembeze bano nti omuntu bw’aweereza obulungi aganyula eggwanga, era naye afuna obumanyirivu n’ettutumu. Yasaba abakulembeze obutakoowa kwefiiriza olw’eggwanga lyabwe.

Omubaka wa Kabaka mu ssaza Buwalabu, Oweek Sheikh Abbas Nsubuga, yeebazizza nnyo Katikkiro olw’okuwa obukulembeze obw’ekyokulabirako, era n'akubiriza abakulembeze banne okumulabirako mu mirimu gyabwe.

Katikkiro ng’ali n’omwami w’essaza Buwalabu.

Katikkiro ng’ali n’omwami w’essaza Buwalabu.

Ensisinkano eno yetabiddwamu Oweek. Ssalongo Robert Sserwanga, nga ye Minista w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone.

Ttabamiruka wa Buganda Bumu Arab and Asia Convention akyagenda mu maaso ku Sheraton Creek Hotel, Dubai.

Oluvannyuma lwa Ssaabasajja Kabaka okumuggulawo ng’ayita mu bubaka bwa Katikkiro, wabaddewo okukubaganya ebirowoozo ku miramwa egy’enjawulo.

Abamu ku beetabye mu Ttabamiruka wa Buganda Bumu Arab and Asian Convention 2025 e Dubai.

Abamu ku beetabye mu Ttabamiruka wa Buganda Bumu Arab and Asian Convention 2025 e Dubai.

Oweek Joseph Kawuki akubaganyizza ebirowoozo ku mulamwa gw'obwasseruganda, ate Oweek Ssalongo Robert Sserwanga n'akubaganya ebirowoozo ku kukulaakulanya ensi nga tosoloozezza musolo.

Ebitongole okuli ekitebe kya Uganda mu Dubai ne NIRA biweereddwa omukisa okutuusa obubaka eri Bannayuganda abakungaanye, okubagoberera amateeka, okweyisa obulungi, n'okubangawo enkola y'obwegassi okusobola okwanguyirwa mu kufuna obuweereza obw'enjawulo okuva mu gavumenti ya United Arab Emirates.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK