Katikkiro nga atuuka ku Mbogo Mixed Secondary School
Katikkiro Charles Peter Mayiga akyaddeko ku Mbogo Mixed Secondary School, essomero eriwezezza emyaka 25 mu kisaawe ky'ebyenjigiriza omwaka guno.
Awerekeddwako Minisita w'Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ate nga ayaniriziddwa Omwami w'Essaza Kyaddondo, Kaggo Owek. Ahmed Magandaazi Matovu n'Omukulu w'essomero lino Mw. Lumu Hamid.
Lino lyabbulwa mu Mulangira Nuuhu Mbogo ejjukirwa ennyo mu kutebenkeza Buganda ne Uganda n'okulafuunira eddiini y'Obusiraamu mu Uganda.
Owek. Mayiga eno gy'asinzidde n'asoomooza abazadde abeesulirayo ogwannagamba mu nsonga y'ebyenjigiriza, abamu ne batuuka n'okuleka abaana okutaayaaya ku byalo mu biseera eby'okusoma.
Abayizi nga bali ne katikkiro mu kifananyi ekyawamu
Ategeezeza nti ebyenjigiriza y'ettaala eyamba okutangaaza ebiseera by'abaana eby'omumaaso era bigulirawo omuntu emikisa mingi ddala, bwatyo akubirizza abazadde okukola ekisoboka okusomesa abaana baabwe, Ensi ereme kubakaluubirira.
Yeebaziza obukulembeze bw'essomero olw'okugunjula abaana b'Eggwanga emyaka gino gyonna era basabye okunnyikiza empisa mu baana, baleme kusomesa bya mu kibiina byokka.
Abayizi abakubirizza okuteekawo omwoyo ku misomo gyabwe ate n'okwetaba mu nteekateeka w'essomero endala nga ebyemizannyo, obukulembeze, okuyimba n'ebirala ng'agamba nti bino biyamba okubagaziyiriza emikisa mu biseera eby'omumaaso.
Oweek Choltilda Nakate ne Katikkiro nga bali n'olukiiko olukulira esomero
Choltilda Nakate Kikomeko Minisita ow'Ebyenjigiriza mu Buganda asiimye nnyo obukulembeze bw'essomero olw'okukolagana obulungi n'Obwakabaka ate n'abantu naddala abazadde, ono era abeebazizza olwokuwa abantu emirimu naddala abayigisa era abasabye n'okusaka abasomesa okuva mw'abo abatendekebwa mu Muteesa I Royal University.
Omwami w'Essaza Kyaddondo Kaggo Owek. Ahmed Magandaazi Matovu ayanirizza Katikkiro mu kifo kino, atenderezza omulimu ogw'ettendo ogukolebwa essomero lino, era ategeezeza nti omutindo gw'ebyenjigiriza omulungi ddala ekiyambye mu kuteekateeka abaana b'Eggwanga.
Yeebaziza n'obukulembeze bw'essomero olw'okuwagiranga enteekateeka z'Obwakabaka ez'enjawulo.