Katikkiro nga ayogerako eri abakozi
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, akuutidde abaweereza ku mirimu bulijjo okufuba okubaga enteekateeka zókubangawo enyingiza ezenjawulo bwebaba nga tebaagala kwennyika mu birowoozo.
Yakubirizza n’abantu okuteekateeka ebiseera eby’omu maaso nga bakozesa bulungi ssente ze bafuna naddala nga batereka n’okuteeka ssente mu mirimu emirala, kibayambe okugaziya ku nfuna yaabwe.
Katikkiro abadde mu lukiiko lwa baweereza mu bwakabaka abatereka ensimbi zaabwe ezóbukadde ne kitongole ki Buganda Provident Fund bwebabadde mu lukiiko lwaabwe ttabamiruka olwa buli mwaka.
Katikkiro era akuutidde abakulira ebittavu byabateresi bulijjo okufuba okulondoola nókugoberera amateeka mu byonna byebasalawo.
Ssentebe we kittavvu kino ekya Buganda Provident Fund era omumyuuka asooka owa Katikkiro Owek Twaha Kigongo Kawaase, alambuludde ku miganyulo gye bibiina bino n'agamba nti byongera okuzimba obulamu bwabakozi n'okubaako byebeekolera mu biseera byabwe eby'omumaaso.