Katikkiro nga atuuka mulubiri e Mengo awabadde omwoleso
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu butongole agguddewo omwoleso gwa Buganda Ggaggadde 2024.
Katikkiro akubirizza abantu okwettanira okulambula ebifo eby'enjawulo mu Buganda ne Uganda, ng'agamba nti kiswaza nnyo omuntu obutamanya bifo ebimuli okumpi ate n'anaayiza ebiri mawanga amalala.
Okwogera bino, abadde aggulawo omwoleso gaggadde 2024 ogwategekeddwa mu Lubiri e Mengo, era yeebaziza bonna abeetabye mu mwoleso guno okuli aboolesezza n'abalambuzi.
Ategeezeza nti omukisa tegwogera naye ebbanga lyonna gubeerawo, bwatyo n'akubirizza abagenda mu mwoleso okuyiga ebintu eby'enjawulo ate nabo baggyemu bye basobola okukola bakyuse obulamu bwabwe nga baggya ekyokuyiga ku bye balabye.
The Honorable Katikkiro touring the different stalls
Minisita w'Obuwangwa n'Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala atenderezza enteekateeka y'omwoleso gw'agambye nti gukuŋŋanyiza ebintu eby'enjawulo bingi mu kifo kimu, ekiwa abantu omukisa okulaba n'okuyiga ebintu eby'enjawulo mu kiseera ekitono.
Akoowoodde abantu okugujjumbira balabe era bayige bingi.
Omwoleso gwatandika ku Lwakutaano nga 16/08 era gwakumala ennaku 10 nga gujja kukomekkerezebwa ku ssande nga 25/08/2024.