donate

Choose Language

Luganda English

donate

Katikkiro Charles Peter Mayiga akomyewo okuva e Bungereza: Akubirizza abali mu Bulaaya okusigayo ensimbi

Katikkiro Charles Peter Mayiga akomyewo okuva e Bungereza: Akubirizza abali mu Bulaaya okusigayo ensimbi
Image

Katikkiro ng'atuuse ku Kisaawe Entebbe

Mu kwogerako eri Bannamawulire ku Kisaawe Entebbe, Owek. Mayiga ategeezeza nti ensonga enkulu eyabatwala e Bulaaya kwe kulaba ng'abantu ba Ssaabasajja ababeera mu Bulaaya bamanyisibwa ebifa eka, okumanya embeera gye balimu ku mawanga n'okwongera okubakumaakuma nga bali bumu.

Eno waatongozeddwayo ttabamiruka wa Buganda mu Bulaaya okwongera okutuukiriza bino.

"Twagala okukkaatiriza ensonga y'Abantu baffe okusiga ensimbi mu Bulaaya, kubanga akatale kagazi n'ensimbi zaabwe nnungi bw'ogeraageranya n'eza wano" Katikkiro.

Katikkiro ng'ayogerera eri bannamawulire oluvannyuma lw'okutuuka ku Kisaawe Entebbe, awamu ne ba minisita abaamuwerekeddeko

Katikkiro ng'ayogerera eri bannamawulire oluvannyuma lw'okutuuka ku Kisaawe Entebbe, awamu ne ba minisita abaamuwerekeddeko

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK