Katikkiro Charles Peter Mayiga azzeemu okusaasira abantu b’e Kiteezi abaafiirwa abantu baabwe n’ebyabwe era naalabula Gavumenti okukwata obulungi ensonga ya kasasiro.
Okwogera bino, Katikkiro abadde Kiteezi gye yeetabye ku mukolo gw’okwabya olumbe lw’omugenzi Kandula Kabonge Emmanuel ng’ono muganda wa munywanyi we Francis Buwuule bwe baatandika kkampuni ya Buwuule and Mayiga Advocates ku Lwomukaaga.
Owek. Mayiga alabudde Gavumenti era n’agisaba erage obukulembeze obulungi ng’entandikirawo enteekateeka ez’okunogera ekizibu kino eddagala ery’olubeerera.
“Omuganda agamba nti osooka kwekoona n’olyoka obuuka, kaakati twekonye era nkubiriza Gavumenti etandikirewo enteekateeka ey’okuzimba ekyokerero kya kasasiro, ” Katikkiro Mayiga.
Mukuumaddamula ategeezezza nti tewali kifo kitagenda kujjula mu nkola ey’okuyiwa obuyiyi kasasiro era wonna we banaagenda oba Ddundu oba wa nayo wajja kujjula, kubanga abantu beeyongera obungi buli kiseera n’ekitegeeza nti ne kasasiro ajja kweyongera.
Katikkiro era alaze obuzibu obulala obuyinza okuva ku mbeera y’obutakwata bulungi nsonga ya kasasiro, nga wano ategeezeza nti ekifo nga eky’e Katabi kirinaanye ennyanja Nnaalubaale, ekitegeeza nti amazzi gonna aganaavanga mu kasasiro gajja kukulukuta gadda mu nnyanja ekiyinza okuvaako endwadde.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, ekyokerero kya kasasiro sikya buwanana obuyinza okulema Gavumenti n’awabula kikomye okukubaganyizibwako ebirowoozo, kubanga y’emu ku ngeri eziriwo ezisobola okugonjoola ekizibu kya kasasiro.
Ono annyonnyodde nti singa ensonga eno ekwatibwa bulungi kasasiro asobola okubeera ow’omugaso navaamu ebigimusa, omukka ogufumba, amanda n’ebintu ebirala era kino kirabiddwako nga kikolebwa munsi eziwerako.