
Katikkiro asisinkanye abakulembeze b’akakiiko akalwanyisa mukenenya okuteesa ku kaweefube w’okumalawo siriimu nga 2030
Katikkiro wa Buganda yatuuzizza olukiiko n’ekibinja okuva mu Kakiiko Akalwanyisa Mukenenya mu Uganda, omwali Tom Ettii (Director of Partnerships) ne Hope Murungi (Coordinator for Civil Society and Private Sector).
Mu lukiiko luno, baayanjudde Prof. Gerald Karyeija Kagambirwe, omutendesi omukulu, ne Dr. Howard Ayo, omukwanaganya w’emirimu, abakulira okwekenneenya kaweefube ow’awamu ogw’okumalawo siriimu nga 2030 we gunaatuukira.
Katikkiro yalambika enteekateeka z’Obwakabaka ezigenda mu maaso, n’ategeeza nti Kabaka akulembeddemu okukunga abantu b’omu Buganda okulwanyisa akawuka ka siriimu.
Yazzeemu okukakasa nti Buganda yeeyama okukolagana n’abakwatibwako mu ggwanga n’ensi yonna okulaba nga ekigendererwa kino kituukirira.